1 Samwiri 20
20
1 #
1 Sam 26:18, 1 Sam 1:26; 25:26, 2 Bassek 2:2 Awo Dawudi n'adduka okuva e Nayosi mu Laama n'ajja n'ayogerera mu maaso ga Yonasaani nti Nkoze ki? buluwa obutali butuukirivu bwange? era kiruwa ekibi kyange mu maaso ga kitaawo n'anoonya obulamu bwange? 2N'amugamba nti Kiddire eri; tojja kufa: laba, kitange tabaako ky'akola oba kikulu oba kitono ky'atambikkulira: era kitange yandinkwekedde ki ekigambo ekyo? si bwe kiri. 3N'okulayira Dawudi n'alayira n'ayogera nti Kitaawo amanyidde ddala nga bwe ŋŋanze mu maaso go; n'ayogera nti Yonasaani tamanyanga kino, aleme okunakuwala: naye mazima nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, wakati wange n'okufa wasigadde kata buta. 4Awo Yonasaani n'alyoka agamba Dawudi nti Buli kintu emmeeme yo ky'eyagala kyonna okukola ndikukolera. 5#1 Sam 19:2,3; 20:18, Kubal 28:11Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti Laba, enkya omwezi gunaaboneka, nange sandiremye kutuula ne kabaka ng'alya: naye kaŋŋende neekweke mu nsiko okutuusa ku lunaku olw'okusatu akawungeezi. 6#1 Sam 9:12; 16:4Kitaawo bw'anambuuza, n'olyoka oyogera nti Dawudi andaze n'anneegayirira nnyo leero agende mangu e Besirekemu ekyalo kye: kubanga ssaddaaka gyeri eya buli mwaka ey'ennyumba ye yonna. 7#1 Sam 25:17, Es 7:7Awo bw'anaayogera nti Bulungi; omuddu wo anaaba n'emirembe: naye bw'anaasunguwala, kale tegeera ng'ateesezza kabi. 8#1 Sam 18:3; 20:16,42; 23:18, 2 Sam 21:7Kale kola omuddu wo obulungi: kubanga wayingiza omuddu wo mu ndagaano ya Mukama naawe: naye oba ng'obutali butuukirivu buli mu nze, nzita wekka; kubanga wandindeetedde ki eri kitaawo? 9#Es 7:7Yonasaani n'ayogera nti Kireme okukubaako n'akatono: kubanga mbeera kumanya n'akatono nga kitange ateesezza akabi okukujjako, kale sandikubuulidde? 10Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti Kitaawo bw'anaaba ng'akuzzeemu n'ebboggo alimbuulira ani? 11Yonasaani n'agamba Dawudi nti Jjangu tufulume tugende mu nsiko. Ne bafuluma bombi ne bagenda mu nsiko.
12Awo Yonasaani n'agamba Dawudi nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, abeere mujulirwa; bwe nnaaba nga mmaze okukemekkereza kitange nga mu kiseera kino enkya oba ku lw'okusatu, laba, bwe waliba obulungi eri Dawudi, kale sirikutumira ne nkikubikkulira? 13#Yos 1:5,17, 1 Sam 10:7, 1 Bassek 1:37, 1 Byom 22:11, 1 Sam 20:18Mukama akole bw'atyo Yonasaani n'okukirawo, kitange bw'aliba ng'asiimye okukukola obubi, ne sikikubikkulira ne nkusindika ogende mirembe: era Mukama abeere naawe nga bwe yabanga ne kitange. 14Naawe olindaga ekisa kya Mukama nga nkyali mulamu, nneme okufa; 15#2 Sam 9:1,3,7; 21:7so si kukoma ku ekyo kyokka, era naye n'ennaku zonna tolisalako kisa kyo ku nnyumba yange: weewaawo, okutuusa Mukama lw'alimala okusalako abalabe ba Dawudi buli omu ku nsi yonna. 16#Yos 22:23Awo Yonasaani n'alagaana endagaano n'ennyumba ya Dawudi nti Ne Mukama aligivunaana mu mukono gw'abalabe ba Dawudi. 17#1 Sam 18:1,3Yonasaani n'alayiza Dawudi nate, olw'okwagala kwe yamwagala: kubanga yamwagala nga bwe yayagala emmeeme ye ye. 18#1 Sam 20:5,6,25,27Awo Yonasaani n'alyoka amugamba nti Enkya omwezi gunaaboneka: era banaakumagamaga, kubanga entebe yo eneeba njereere. 19Awo bw'olimala ennaku ssatu, n'oserengeta mangu n'ojja mu kifo mwe weekwekera ekigambo ekyo bwe kyaliwo, n'obeera awali ejjinja Ezeri. 20Nange ndirasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, nga nteeba sabbaawa. 21#Luus 3:13, 1 Sam 20:3Kale, laba, ndituma omwana nga njogera nti Genda onoonye obusaale. Bwe ndigamba omwana nti Laba, obusaale buli ku luuyi luno gye ndi: kale n'obutwala n'ojja; kubanga waliwo emirembe gy'oli so tewali kabi, nga Mukama bw'ali omulamu. 22Naye bwe ndigamba omwana bwe ntyo nti Laba, obusaale buli ku luuyi olw'omumaaso go: kale ne weddukira: kubanga Mukama ng'akusindise. 23Era ekigambo ekyo kye twayogerako ggwe nange, laba, Mukama ali wakati wo nange ennaku zonna.
24Awo Dawudi ne yeekweka mu nsiko: awo omwezi bwe gwaboneka, kabaka ne yeetuulira okulya ku mmere. 25#1 Sam 14:50; 20:18Kabaka n'atuula ku ntebe ye ng'olulala, ye ntebe eriraanye ekisenge; Yonasaani n'ayimirira. Abuneeri n'atuula ku lubiriizi lwa Sawulo: naye entebe ya Dawudi yali njereere. 26#Leev 7:21Naye Sawulo teyaliiko kye yayogera ku lunaku olwo: kubanga yalowooza nti Aliko ky'abadde, si mulongoofu; mazima si mulongoofu. 27#1 Sam 20:18Awo olwatuuka enkya omwezi nga gumaze okuboneka, lwe lunaku olw'okubiri, entebe ya Dawudi n'eba njereere: Sawulo n'agamba Yonasaani mutabani we nti Kiki ekirobera mutabani wa Yese okujja ku mmere newakubadde jjo newakubadde leero? 28#1 Sam 20:6Yonasaani n'addamu Sawulo nti Dawudi yandaga ng'anneegayirira nnyo okugenda e Besirekemu: 29n'ayogera nti Leka ŋŋende, nkwegayiridde; kubanga ennyumba yaffe balina ssaddaaka mu kyalo; ne muganda wange yandagira okubaawo: kale nno oba nga ŋŋanze mu maaso go, leka ŋŋende, nkwegayiridde, ndabe baganda bange. Kyeyava alema okujja ku mmeeza ya kabaka. 30Awo obusungu ne bukwata Sawulo eri Yonasaani n'amugamba nti Ggwe omwana w'omukazi omukakanyavu omujeemu, simanyi nga walonda mutabani wa Yese okwekwasa ensonyi, n'okukwasa ensonyi obwereere bwa nnyoko? 31Kuba mutabani wa Yese ng'akyali mulamu ku ttaka, tolinywezebwa ggwe newakubadde obwakabaka bwo. Kale nno kaakano tuma omunkimire, kubanga taaleme kufa. 32#1 Sam 19:5, Mat 27:23Yonasaani n'addamu Sawulo kitaawe n'amugamba nti Ekinaaba kimussa kiki? akoze ki? 33#1 Sam 18:11; 19:10; 20:7Sawulo n'akasuka effumu lye okumufumita: Yonasaani kwe yategeerera kitaawe ng'amaliridde okutta Dawudi. 34Awo Yonasaani n'agolokoka ku mmeeza ng'aliko ekiruyi kingi, n'atalya ku mmere yonna ku lunaku olw'okubiri olw'omwezi: yanakuwala olwa Dawudi, kubanga kitaawe yali amuwemukidde.
35Awo olwatuuka enkya Yonasaani n'afuluma n'agenda mu nsiko mu kiseera kye yalagaana ne Dawudi, n'omulenzi omuto ng'ali naye. 36N'agamba omulenzi we nti Dduka onoonye nno obusaale bwe ndasa. Omulenzi ng'adduka n'alasa akasaale ku luuyi olw'omu maaso ge. 37#1 Sam 20:22Awo omulenzi bwe yatuuka mu kifo eky'akasaale Yonasaani ky'alasizza, Yonasaani n'akoowoola omulenzi n'ayogera nti Akasaale tekali ku luuyi olw'omu maaso go? 38Yonasaani n'akoowoola omulenzi nti Dduka, yanguwa, tolwawo. Omulenzi wa Yonasaani n'alonda obusaale, n'ajja eri mukama we. 39Naye omulenzi teyaliiko kye yategeera: Yonaansai ne Dawudi bokka be baamanya ekigambo. 40Awo Yonasaani n'awa omulenzi we ebintu bye, n'amugamba nti Genda ozitwale mu kibuga. 41#Bik 20:37Awo omulenzi ng'agenze Dawudi n'agolokoka mu kifo ekyali ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'avuunama amaaso ge n'akutama emirundi esatu: ne banywegeragana ne bakaaba bokka na bokka okutuusa Dawudi lwe yayingiriza. 42#1 Sam 20:13,23Yonasaani n'agamba Dawudi nti Genda mirembe kubanga tulayidde fembi mu linnya lya Mukama nga twogera nti Mukama anaabanga wakati wange naawe era wakati w'ezzadde lyange n'ezzadde lyo, ennaku zonna. N'agolokoka n'agenda: Yonasaani n'ayingira mu kibuga.
Currently Selected:
1 Samwiri 20: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.