1 Samwiri 18
18
1 #
1 Sam 19:2; 20:17; 23:16-18, 2 Sam 1:26 Awo olwatuuka bwe yamala okwogera ne Sawulo, emmeeme ya Yonasaani n'egattibwa n'emmeeme ya Dawudi, Yonasaani n'amwagala ng'emmeeme ye ye. 2Sawulo n'amutwala ku lunaku olwo n'atamuganya kuddayo nate eka mu nnyumba ya kitaawe. 3Awo Yonasaani ne Dawudi ne balagaana endagaano kubanga yamwagala ng'emmeeme ye ye. 4Yonasaani ne yeeyambulamu omunagiro gwe gwe yali ayambadde n'aguwa Dawudi, n'ekyambalo kye, era n'ekitala kye n'omutego gwe n'olukoba lwe. 5Dawudi n'agendanga buli Sawulo gye yamutumanga n'ayisa n'amagezi: Sawulo n'amufuula omukulu w'abasajja abalwanyi, abantu bonna ne bakisiima, era n'abaddu ba Sawulo.
6 #
Kuv 15:20, Balam 11:34 Awo olwatuuka nga bajja, Dawudi bwe yakomawo ng'asse Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isiraeri, nga bayimba era nga bazina, okusisinkana ne kabaka Sawulo, nga balina ebitaasa, nga basanyuka, nga bakutte ebivuga. 7#Kuv 15:21, 1 Sam 21:11; 19:5Abakazi ne bayimbiragana nga bazannya ne boogera nti
Sawulo asse enkumi ze,
Ne Dawudi obukumi bwe.
8 #
1 Sam 15:28
Sawulo n'asunguwala nnyo ekigambo ekyo ne kimunyiiza; n'ayogera nti Dawudi bamuwadde obukumi, nange bampadde enkumi zokka: kale ayinza okweyongera okuba na ki wabula obwakabaka? 9Awo Sawulo n'amutunuulira Dawudi n'eriiso ebbi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo.
10 #
Balam 9:23, 1 Sam 16:14,16,23 Awo olwatuuka enkya omuzimu omubi ogwava eri Katonda ne gujja ku Sawulo n'amaanyi, n'alagulira wakati mu nnyumba: Dawudi n'akuba ennanga n'engalo ze nga bwe yakolanga buli lunaku: era Sawulo yalina effumu lye mu ngalo ze. 11#1 Sam 19:10; 20:23Sawulo n'akasuka effumu; kubanga n'ayogera nti Naafumita Dawudi okukwasa n'ekisenge. Dawudi ne yeewomera mu maaso ge emirundi ebiri. 12#1 Sam 16:14,18; 18:28,29; 28:15Awo Sawulo n'atya Dawudi kubanga Mukama yali naye, era ng'avudde ku Sawulo. 13#2 Sam 5:2Sawulo kyeyava amuggya w'ali n'amufuula omukulu we ow'olukumi: n'afulumanga n'ayingira mu maaso g'abantu. 14Dawudi n'ayisa n'amagezi mu makubo ge gonna; era Mukama yali naye. 15Awo Sawulo bwe yalaba ng'ayisa n'amagezi mangi nnyo, n'amutekemukira. 16Naye Isiraeri yenna ne Yuda ne bamwagala Dawudi; kubanga yafulumanga n'ayingira mu maaso gaabwe.
17 #
1 Sam 14:49; 17:25; 25:28 Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti Laba, muwala wange omukulu Merabu ndikumuwa okumuwasa: kyokka ombeereranga omuzira olwanenga entalo za Mukama. Kubanga Sawulo yayogera nti Omukono gwange guleme okumubaako, naye omukono gw'Abafirisuuti gumubeeko. 18#2 Sam 7:18Awo Dawudi n'agamba Sawulo nti Nze ani, n'obulamu bwange kiki, oba ennyumba ya kitange mu Isiraeri, nze okuba mukoddomi wa kabaka? 19#2 Sam 21:8Naye olwatuuka ebiro bwe byajja bwe kyagwanira okumuwa Dawudi Merabu muwala wa Sawulo, awo ne bamuwa Adulieri Omumekolasi okumufumbirwa. 20#1 Sam 14:49Awo Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala Dawudi: ne babuulira Sawulo, ekigambo ekyo n'akisiima. 21#Kuv 23:33Sawulo n'ayogera nti Ndimumuwa abeere ekyambika gy'ali, n'omukono gw'Abafirisuuti gulwane naye. Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti Leero onooba mukoddomi wange omulundi ogw'okubiri. 22Awo Sawulo n'alagira abaddu be nti Muteese ne Dawudi mu kyama mwogere nti Laba, kabaka akusanyukira n'abaddu be bonna bakwagala: kale nno kaakano beera mukoddomi wa kabaka. 23#1 Sam 18:18Awo abaddu ba Sawulo ne boogera ebigambo ebyo mu matu ga Dawudi. Dawudi n'ayogera nti Mukiyita kigambo kitono okuba mukoddomi wa kabaka, nze ani omusajja omwavu era gwe batayitamu ka buntu? 24Abaddu ba Sawulo ne bamubuulira nga boogera nti Bw'atyo Dawudi bw'ayogedde. 25#Lub 34:12, Kuv 22:17, 1 Sam 18:17Sawulo n'ayogera nti Bwe mutyo bwe munaagamba Dawudi nti Kabaka tayagala eby'obuko byonna, wabula ebikuta by'Abafirisuuti kikumi, okuwalana eggwanga ku balabe ba kabaka. Era Sawulo yali alowooza okussa Dawudi omukono gw'Abafirisuuti. 26Awo abaddu be bwe baabuulira Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n'asiima nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ennaku nga tezinnaba kuyitawo; 27#1 Sam 25:44, 2 Sam 2:14Dawudi n'agolokoka n'agenda, ye n'abasajja be, n'atta ku Bafirisuuti abasajja ebikumi bibiri; Dawudi n'aleeta ebikuta byabwe, ne babiwa kabaka omuwendo nga gutuukiridde, alyoke abeere mukoddomi wa kabaka. Awo Sawulo n'amuwa Mikali muwala we okumufumbirwa. 28Sawulo n'alaba n'ategeera nga Mukama ali ne Dawudi; ne Mikali muwala wa Sawulo n'amwagala. 29#1 Sam 18:12,20Awo Sawulo ne yeeyongera nate okutya Dawudi, Sawulo n'aba mulabe wa Dawudi ennaku zonna.
30 #
1 Sam 18:5; 19:8 Awo abaami b'Abafirisuuti ne balyoka batabaala: awo olwatuuka buli lwe baatabaalanga, Dawudi n'ayisanga n'amagezi n'asinga abaddu ba Sawulo bonna; erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.
Currently Selected:
1 Samwiri 18: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.