Abakazi ne bayimbiragana nga bazannya ne boogera nti
Sawulo asse enkumi ze,
Ne Dawudi obukumi bwe.
Sawulo n'asunguwala nnyo ekigambo ekyo ne kimunyiiza; n'ayogera nti Dawudi bamuwadde obukumi, nange bampadde enkumi zokka: kale ayinza okweyongera okuba na ki wabula obwakabaka?