YouVersion Logo
Search Icon

1 Samwiri 15

15
1 # 1 Sam 9:16 Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Mukama yantuma okukufukako amafuta okuba kabaka w'abantu be Isiraeri: kale nno kaakano wulira eddoboozi ly'ebigambo bya Mukama. 2#Kuv 17:8-16, Ma 25:17-19Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nekkaanya ebyo Amaleki bye yakola Isiraeri, bwe yeesimbawo okumuziyiza mu kkubo, bwe yalinnya okuva mu Misiri. 3#Leev 27:28,29, Yos 6:17,21Kaakano genda okube Amaleki, ozikiririze ddala byonna bye balina, so tobasaasira; naye batte abasajja n'abakazi, omwana omuwere n'ayonka, ente n'endiga, eŋŋamira n'endogoyi.
4Awo Sawulo n'ayita abantu n'ababalira e Terayimu, abasajja abatambula n'ebigere obusiriivu bubiri, n'abasajja ba Yuda kakumi. 5Sawulo n'atuuka ku kibuga kya Amaleki n'ateegera mu kiwonvu. 6#Kuv 18:10,19, Kubal 10:29,32, Balam 1:16, 1 Sam 27:10Sawulo n'agamba Abakeeni nti Mugende muveewo muserengete okuva mu Bamaleki nneme okubazikiriza awamu nabo: kubanga mwakola eby'ekisa abaana ba Isiraeri bonna, bwe baava mu Misiri. Awo Abakeeni ne bava mu Bamaleki. 7#Lub 16:7; 25:18, 1 Sam 27:8Sawulo n'akuba Abamaleki, okuva e Kavira ng'ogenda e Ssuuli, ekyolekera Misiri. 8#1 Sam 27:8,9; 30:1N'awamba Agagi kabaka w'Abamaleki, n'azikiririza ddala abantu bonna n'obwogi bw'ekitala. 9#1 Sam 15:15,21; 28:18Naye Sawulo n'abantu ne basonyiwa Agagi n'endiga ezaasinga obulungi n'ente n'ebya ssava n'abaana b'endiga n'ebirungi byonna, ne bagaana okubizikiririza ddala: naye ebibi byonna era ebitali bya muwendo ebyo ne babizikiririza ddala.
10Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Samwiri ng'ayogera 11#Lub 6:6, Kubal 23:19, 1 Sam 13:13; 15:23,29,35nti Nejjusizza kubanga nakuza Sawulo okuba kabaka: kubanga azzeeyo ennyuma obutangoberera so takoze biragiro byange. Awo Samwiri n'asunguwala; n'akaabira Mukama okukeesa obudde. 12#Yos 15:55, 1 Sam 25:2Awo Samwiri n'agolokoka mu makya okusisinkana ne Sawulo enkya; ne bamubuulira Samwiri nti Sawulo yatuuka ku Kalumeeri, era, laba, ne yeesimbira ekijjukizo, n'akyuka n'ayitamu n'aserengeta e Girugaali. 13Awo Samwiri n'ajja eri Sawulo: Sawulo n'amugamba nti Oweebwe Mukama omukisa: nkoze ekiragiro kya Mukama. 14Awo Samwiri n'ayogera nti Okubejjagala kuno okw'endiga nno okuli mu matu gange makulu ki, n'okuŋooŋa kw'ente kwe mpulira? 15#1 Sam 15:9Sawulo n'ayogera nti Baaziggye ku Bamaleki ne bazireeta: kubanga abantu baasonyiye endiga n'ente ezaasinga obulungi, okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wo; n'ebirala tubizikiririzza ddala. 16Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Sooka oleke nange naakubuulira Mukama by'aŋŋambye ekiro kino. N'amugamba nti Yogera. 17#1 Sam 9:21; 10:1Samwiri n'ayogera nti Newakubadde nga wali mutono mu maaso go ggwe, tewafuuka mutwe gwa bika bya Isiraeri? Mukama n'akufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: 18Mukama n'akutuma olugendo, n'ayogera nti Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, olwane nabo okutuusa lwe balimalibwawo. 19#1 Sam 14:32Kale kiki nno ekyakulobera okugondera eddoboozi lya Mukama, naye n'ogwa ku munyago, n'okola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama? 20#1 Sam 15:13Sawulo n'agamba Samwiri nti Okugondera ŋŋondedde eddoboozi lya Mukama, ne ŋŋenda olugendo Mukama lwe yantuma, ne ndeeta Agagi kabaka wa Amaleki, ne nzikiririza ddala Abamaleki. 21#1 Sam 15:15Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n'ente, ebyasinga mu ebyo ebyawongebwa, okuweerayo eri Mukama Katonda wo e Girugaali. 22#Zab 40:6-8; 50:8,9, Nge 21:3, Mub 5:1, Is 1:11-13,16,17, Yer 7:22,23, Kos 6:6, Am 5:21-24, Mi 6:6-8, Mat 9:13; 12:7, Mak 12:33Samwiri n'ayogera nti Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw'asanyukira okugondera eddoboozi lya Mukama? Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi, n'okuwulira kusinga amasavu g'endiga ennume. 23#Lub 31:14Kubanga okujeema kuliŋŋanga ekibi eky'obufumu, n'obukakanyavu buliŋŋanga okusinza ebifaananyi ne baterafi. Kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, naye akugaanyi okuba kabaka. 24#2 Sam 12:13, Mak 15:15Awo Sawulo n'agamba Samwiri nti Nayonoona: kubanga nasobya ekiragiro kya Mukama n'ebigambo byo: kubanga natya abantu ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe. 25Kale nno kaakano, nkwegayiridde, sonyiwa ekibi kyange, okyukire wamu nange nate nsinze Mukama. 26#1 Sam 16:1Samwiri n'agamba Sawulo nti Siddeyo naawe: kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanyi okuba kabaka wa Isiraeri. 27#1 Bassek 11:30,31Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, n'akwata ekirenge ky'ekyambalo kye ne kiyulika. 28#1 Sam 28:17,18Awo Samwiri n'amugamba nti Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isiraeri leero, n'abuwa muliraanwa wo akusinga obulungi. 29#Kubal 23:19, Ez 24:14, Bar 11:29, 2 Tim 2:12,13, Beb 6:18Era Maanyi ga Isiraeri talirimba so talyejjusa: kubanga si muntu yejjuse. 30#1 Sam 15:25N'alyoka ayogera nti Nayonoona: naye nzisaamu ekitiibwa kaakano, nkwegayiridde, mu maaso g'abakadde b'abantu bange ne mu maaso ga Isiraeri, okyukire wamu nange nate nsinze Mukama Katonda wo. 31Awo Samwiri n'akyuka nate okugoberera Sawulo; Sawulo n'asinza Mukama.
32Awo Samwiri n'alyoka ayogera nti Mundeetere wano Agagi kabaka w'Abamaleki. Agagi n'ajja gy'ali ng'akumba. Agagi n'ayogera nti Mazima obubalagaze bw'okufa buyise. 33#Balam 1:7, Yak 2:13Samwiri n'ayogera nti Ng'ekitala kyo bwe kyafuulanga abakazi obutaba na baana, bw'atyo nnyoko bw'aliba talina baana mu bakazi. Awo Samwiri n'atemeratemera Agagi mu maaso ga Mukama e Girugaali.
34 # 1 Sam 1:19; 10:26 Awo Samwiri n'alyoka agenda e Laama; Sawulo n'ayambuka mu nnyumba ye e Gibea ekya Sawulo. 35#1 Sam 15:11; 19:24; 25:1Samwiri n'atajja nate okulaba Sawulo okutuusa ku lunaku kwe yafiira; kubanga Samwiri yanakuwalira Sawulo: Mukama ne yejjusa kubanga yafuula Sawulo kabaka wa Isiraeri.

Currently Selected:

1 Samwiri 15: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in