1
1 Samwiri 15:22
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Samwiri n'ayogera nti Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw'asanyukira okugondera eddoboozi lya Mukama? Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi, n'okuwulira kusinga amasavu g'endiga ennume.
Compare
Explore 1 Samwiri 15:22
2
1 Samwiri 15:23
Kubanga okujeema kuliŋŋanga ekibi eky'obufumu, n'obukakanyavu buliŋŋanga okusinza ebifaananyi ne baterafi. Kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, naye akugaanyi okuba kabaka.
Explore 1 Samwiri 15:23
3
1 Samwiri 15:29
Era Maanyi ga Isiraeri talirimba so talyejjusa: kubanga si muntu yejjuse.
Explore 1 Samwiri 15:29
4
1 Samwiri 15:11
nti Nejjusizza kubanga nakuza Sawulo okuba kabaka: kubanga azzeeyo ennyuma obutangoberera so takoze biragiro byange. Awo Samwiri n'asunguwala; n'akaabira Mukama okukeesa obudde.
Explore 1 Samwiri 15:11