YouVersion Logo
Search Icon

1 Samwiri 14

14
1Awo olunaku lwali lumu Yonasaani mutabani wa Sawulo n'agamba omulenzi eyatwalanga ebyokulwanyisa bye, nti Jjangu tusomoke tugende eri ekigo eky'Abafirisuuti ekiri emitala w'eri. Naye n'atabuulira kitaawe. 2#1 Sam 13:15Sawulo n'abeera mu kitundu eky'e Gibea eky'enkomerero munda w'omukomamawanga oguli e Miguloni: n'abantu abaali naye baali abasajja nga lukaaga; 3#1 Sam 2:28; 4:21; 22:11,20ne Akiya, mutabani wa Akitubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro, ng'ayambadde ekkanzu. Abantu ne batamanya nga Yonasaani agenze. 4#1 Sam 13:23Awo wakati awayitibwa Yonasaani we yali ayagala okufuluma okutuuka mu kigo eky'Abafirisuuti, waaliwo ejjinja essongovu eruuyi n'ejjinja essongovu eruuyi: n'erimu erinnya lyalyo Bozezi, n'eddala erinnya lyalyo Sene. 5Ejjinja erimu lyali liyimiridde ku luuyi olw'obukiika obwa kkono okwolekera Mikumasi, n'eddala ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo okwolekera Geba. 6#Yos 14:2, Balam 7:4,7; 14:3, 1 Sam 17:47, 2 Byom 14:11Awo Yonasaani n'agamba omulenzi eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Jjangu tusomoke tugende eri ekigo eky'abatali bakomole bano: mpozzi Mukama anaatukolera omulimu: kubanga Mukama tewali kimuziyiza okulokola n'abangi oba n'abatono. 7Eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'amugmaba nti Kola byonna ebiri mu mutima gwo: kyuka, laba nze ndi wamu naawe ng'omutima gwo bwe guli. 8Awo Yonasaani n'ayogera nti Laba, tunaasomoka ne tugenda eri abasajja ne tweyerula gye bali. 9Bwe banaatugamba nti Mubeere eyo okutuusa bwe tunajja gye muli; awo tunaayimirira buyimirizi mu kifo kyaffe ne tutayambuka gye bali. 10#Lub 24:14Naye bwe banaayogera nti Mujje gye tuli; awo tunaayambuka: kubanga Mukama abagabudde mu mukono gwaffe: era ako ke kanaabeera akabonero gye tuli. 11#1 Sam 13:6Awo bombi ne beeyerula eri ekigo eky'Abafirisuuti: Abafirisuuti ne boogera nti Laba, Abaebbulaniya bafuluma mu bunnya mwe baali beekwese. 12Abasajja ab'omu kigo ne baddamu Yonasaani n'oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye ne boogera nti Mwambuke gye tuli tubalage ekigambo. Awo Yonasaani n'agamba eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Yambuka ongoberere: kubanga Mukama abagabudde mu mukono gwa Isiraeri. 13Awo Yonasaani n'alinnya ng'ayavula n'engalo n'ebigere n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye ng'amugoberera: ne bagwa mu maaso ga Yonasaani; n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'abatta ng'amuvaako nnyuma. 14Era olutta olwo olw'olubereberye Yonasaani n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye lwe batta lwali lwa basajja ng'amakumi abiri, n'ebbanga lyali nga kitundu kya lubimbi mu musiri gw'ettaka. 15#1 Sam 13:17Ne wabaawo okukankana mu lusiisira ne mu nnimiro ne mu bantu bonna; ab'omu kigo n'abakwekwesi ne bakankana nabo: ensi n'ekankana: awo ne wabaawo okukankana okunene enyo. 16#Yos 2:9N'abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea ekya Benyamini ne batunula; awo, laba, ekibiina ne kisereba, ne bagenda eruuyi n'eruuyi.
17Awo Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti Mubale kaakano, mulabe bw'ali atuvuddemu. Awo bwe baabala, laba, Yonasaani n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nga tebaliiwo. 18#1 Sam 7:2Sawulo n'agamba Akiya nti Leeta eno ssanduuko ya Katonda. Kubanga essanduuko ya Katonda yali eyo mu biro ebyo wamu n'abaana ba Isiraeri. 19#Kubal 27:21Awo olwatuuka, Sawulo ng'ayogera ne kabona, oluyoogaano olwali mu lusiisira olw'Abafirisuuti ne lubaawo ne lweyongera: Sawulo n'agamba kabona nti Zzaayo omukono gwo. 20#Balam 7:22, 2 Byom 20:23Awo Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana ne bajja okulwana: awo laba, ekitala kya buli muntu ne kirwana ne munne ne waba okukeŋŋentererwa okunene ennyo. 21Awo Abaebbulaniya abaali n'Abafirisuuti ng'edda, abaayambuka nabo mu lusiisira okuva mu nsi eyeetooloola; era nabo ne bakyuka okuba n'Abaisiraeri abaali ne Sawulo ne Yonasaani. 22#1 Sam 13:6; 14:11Era bwe batyo n'abasajja bonna aba Isiraeri abaali beekwese mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, bwe baawulira Abafirisuuti nga badduse, era nabo ne babagobererera ddala mu lutalo. 23#Kuv 14:30Awo Mukama n'alokola bw'atyo Isiraeri ku lunaku olwo: olutalo ne luggukira e Besaveni. 24Abantu ba Isiraeri ne balaba ennaku ku lunaku olwo: naye Sawulo n'alayiza abantu ng'ayogera nti Omuntu akolimirwe anaalya ku mmere yonna okutuusa akawungeezi, nange nga mmaze okuwalana eggwanga ku balabe bange. Awo abantu ne batalega ku mmere n'omu. 25Abantu bonna ne batuuka mu kibira; era waaliwo omubisi gw'enjuki wansi. 26Awo abantu bwe baali batuuse mu kibira, laba, omubisi gw'enjuki nga gutonnya: naye ne wataba muntu eyateeka engalo ze ku mumwa; kubanga abantu baatya ekirayiro. 27#1 Sam 14:43Naye Yonasaani teyawulira kitaawe bwe yalayiza abantu ekirayiro: kyeyava agolola omusa gw'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'agunnyika mu bisenge by'enjuki, n'ateeka engalo ze ku mumwa; amaaso ge ne galaba bulungi. 28Awo omu ku bantu n'addamu n'ayogera nti Kitaawo yakuutira abantu ng'abalayiza ekirayiro ng'ayogera nti Akolimirwe omuntu anaalya ku mmere leero. Abantu ne bayongobera. 29Awo Yonasaani n'ayogera nti Kitange anakuwazizza ensi: laba, nkwegayiridde, amaaso gange bwe galabye obulungi, kubanga ndezeeko katono ku mubisi guno ogw'enjuki. 30Tebandisinze nnyo abantu singa balidde leero ku munyago ogw'abalabe baabwe gwe balabye ne bakkuta? kubanga kaakano tewabadde lutta lunene mu Bafirisuuti. 31Ne batta ku Bafirisuuti ku lunaku olwo okuva e Mikumasi okutuuka ku Ayalooni: abantu ne bayongobera nnyo. 32#Leev 3:17, 1 Sam 15:19, Bik 15:20Awo abantu ne bagwa ku munyago, ne banyaga endiga n'ente n'ennyana ne bazittira awo: abantu ne bazirya awamu n'omusaayi. 33#Lub 9:4Awo ne bamubuulira Sawulo nga boogera nti Laba, abantu basobya ku Mukama kubanga balya wamu n'omusaayi. N'ayogera nti Mukuusizza: munjiringisize ejjinja eddene leero. 34Sawulo n'ayogera nti Musaasaane mu bantu, mubagambe nti Mundeetere wano buli muntu ente ye na buli muntu endiga ye, muzittire wano mulye: so temusobya ku Mukama nga mulya omusaayi. Abantu bonna ne baleeta buli muntu ente ye wamu naye ekiro ekyo ne bazittira eyo. 35#1 Sam 7:17, 2 Sam 24:25Sawulo n'azimbira Mukama ekyoto: ekyo kye kyali ekyoto eky'olubereberye kye yazimbira Mukama.
36 # 1 Sam 14:3,18,19 Awo Sawulo n'ayogera nti Tuserengete tugoberere Abafirisuuti ekiro, tubanyage okutuusa emmambya lw'eneesala, tuleme okusigaza omuntu ku bo. Ne boogera nti Kola kyonna kyonna ky'osiima. Awo kabona n'ayogera nti Tusemberere Katonda wano. 37#1 Sam 8:18; 28:6Sawulo n'abuuza Katonda amagezi nti Nserengete okugoberera Abafirisuuti? onoobagabula mu mukono gwa Isiraeri? Naye n'atamuddamu ku lunaku olwo. 38Sawulo n'ayogera nti Musembere wano, mmwe mwenna abakulu b'abantu: mutegeere mulabe ekibi kino mwe kibadde leero. 39#Luus 3:13Kubanga Mukama alokola Isiraeri nga bw'ali omulamu, newakubadde nga kibadde mu Yonasaani mutabani wange, taaleme kufa. Naye ne wataba muntu n'omu mu bantu bonna eyamuddamu. 40Awo n'agamba Isiraeri yenna nti Mmwe mubeere ku luuyi lumu, nange ne Yonasaani mutabani wange tunaaba ku luuyi olulala. Abantu ne bagamba Sawulo nti Kola nga bw'osiima. 41#Yos 7:16-18, 1 Sam 10:20-21, Bik 1:24-26Sawulo kyeyava agamba Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Laga eby'ensonga. Awo akalulu ne kabagwako Sawulo ne Yonasaani; naye abantu ne bawona. 42Sawulo n'ayogera nti Mukubire nze ne Yonasaani mutabani wange. Ne kamugwako Yonasaani. 43#Yos 7:19, 1 Sam 14:27Awo Sawulo n'agamba Yonasaani nti Mbuulira by'okoze. Yonasaani n'amubuulira n'ayogera nti Okulega naleze ku tubisi tw'enjuki n'omusa gw'omuggo ogubadde mu mukono gwange; kale, laba kiŋŋwanidde okufa. 44#Luus 1:17Sawulo n'ayogera nti Katonda akole bw'atyo n'okukirawo: kubanga tooleme kufa, Yonasaani. 45#2 Sam 14:11, 1 Bassek 1:52, Luk 21:18, Bik 27:34Abantu ne bagamba Sawulo nti Yonasaani anaafa akoze obulokozi buno obukulu mu Isiraeri? Kiddire eri: nga Mukama bw'ali omulamu, tewaliba ku nviiri ze na lumu olunaagwa wansi: kubanga akoledde wamu ne Katonda leero. Awo abantu ne banunula bwe batyo Yonasaani, n'atafa. 46Awo Sawulo n'aleka okugoberera Abafirisuuti n'ayambuka: Abafirisuuti ne baddayo ewaabwe.
47 # 1 Sam 11:11, 2 Sam 8:3; 10:6 Awo Sawulo bwe yamala okulya obwakabaka bwa Isiraeri, n'alwana n'abalabe be bonna enjuyi zonna, Mowaabu n'abaana ba Amoni ne Edomu ne bakabaka ba Zoba n'Abafirisuuti: awo n'abeeraliikirizanga buli gye yakyukanga yonna. 48#1 Sam 15:3,7N'akola eby'obuzira n'akuba Abamaleki, n'alokola Isiraeri mu mikono gy'abo abaabanyaganga.
49 # 1 Sam 18:17,19,20,27; 31:2, 2 Sam 2:8-10; 21:8, 1 Byom 8:33; 9:39 Ne batabani ba Sawulo baali Yonasaani ne Isuvi ne Malukisuwa: n'amannya ga bawala be ababiri gaagano; omubereberye erinnya lye Merabu, n'omuto erinnya lye Mikali: 50#1 Sam 10:14, 2 Sam 2:8ne mukazi wa Sawulo erinnya lye yali Akinoamu omwana wa Akimaazi: n'omukulu w'eggye lye erinnya lye yali Abuneeri mutabani wa Neeri muganda wa kitaawe wa Sawulo. 51#1 Sam 9:1Ne Kiisi yali kitaawe wa Sawulo; ne Neeri kitaawe wa Abuneeri yali mutabani wa Abiyeeri.
52 # 1 Sam 8:11 Awo ne balwana nnyo nnyini n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Sawulo: awo Sawulo bwe yalabanga omuntu yenna ow'amaanyi oba omuzira yenna, n'amwesenzezanga.

Currently Selected:

1 Samwiri 14: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in