YouVersion Logo
Search Icon

1 Peetero 1

1
1 # Yak 1:1 Peetero, omutume wa Yesu Kristo, eri abalonde abaasaasaana abatambuze ab'omu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya ne Bisuniya, 2#Bar 8:29, Beb 12:24nga bwe yasooka okutegeera Katonda Kitaffe, mu kutukuza kw'Omwoyo, olw'okugonda n'okumansirwako omusaayi gwa Yesu Kristo: ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli.
3Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw'okubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu, 4#Bak 1:12Tuyingire mu busika obutaggwaawo, obutalina kko, obutawotoka, obwabaterekerwa mmwe mu ggulu, 5#Yok 10:28; 17:11, Bar 5:3,4, Bag 3:23, 1 Kol 2:5amaanyi ga Katonda be gakuuma olw'okukkiriza okufuna obulokozi obweteeseteese okubikkulibwa mu biro eby'enkomerero. 6#1 Peet 5:10, Beb 12:11, Yak 1:2, 2 Kol 4:17Obwo bwe mujagulizaamu, newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono kaakano, oba nga kibagwanira, 7#Nge 17:3, Mal 3:3, Bar 2:7,10, Yak 1:3okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa: 8#Yok 17:20; 20:29, 2 Kol 5:7, 2 Tim 4:8gwe mwagala nga temunnaba kumulaba: gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa: 9#Bar 6:22nga muweebwa ekyabakkirizisa, bwe bulokozi bw'obulamu. 10#Mat 13:17, Luk 10:24Eby'obulokozi obwo bannabbi abaalagulanga eby'ekisa ekyali kigenda okujja gye muli baanoonyanga nnyo ne bakenneenyanga: 11#Zab 22:1, Is 52:13; 53:12, Luk 24:26nga banoonya ebiro bwe biri oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalaga, ng'asooka okutegeeza ebibonoobono bya Kristo, n'ekitiibwa ekibigoberera. 12#Bef 3:10, Luk 2:13Nabo babikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku lwammwe baaweereza ebyo bye mwakajja mubuulirwe kaakano abo abaababuulira enjiri mu Mwoyo Omutukuvu eyatumibwa okuva mu ggulu; bamalayika bye beegomba okulingiza.
13 # Luk 12:35, Bef 6:14 Kale musibenga ebimyu by'amagezi gammwe, mutamiirukukenga, musuubirirenga ddala ekisa ekiribaleeterwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa; 14#Bar 12:2, Bef 2:3; 4:17ng'abaana abagonda, nga temwefaananya okwegomba okw'edda okw'omu butamanya bwammwe: 15naye ng'oyo eyabayita bw'ali omutukuvu era nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna; 16#Leev 11:44; 19:2; 20:7kubanga kyawandiikibwa nti Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu. 17#Zab 89:26, Yer 3:19, Mal 1:6, Mat 6:9, Bar 2:11Era bwe mumuyitanga Kitammwe, asala omusango awatali kusaliriza ng'omulimu gwa buli muntu bwe guli, mutambulenga n'entiisa mu biro byammwe eby'okuba abayise: 18#Is 52:3, 1 Kol 6:20; 7:23nga mumanyi nga temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu, mu mpisa zammwe ezitaliimu ze mwaweebwa bajjajjammwe; 19#Is 53:7, Beb 9:14wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omungi, ng'ogw'omwana gw'endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala, ye Kristo: 20#Bar 16:25, Bef 1:4eyategeerebwa edda ensi nga tezinnatondebwa, naye n'alabisibwa ku nkomerero y'ebiro ku lwammwe, 21#Yok 14:6, Bar 4:24, Bak 1:27abakkiriza ku bubwe Katonda eyamuzuukiza mu bafu n'amuwa ekitiibwa; okukkiriza kwammwe n'okusuubira biryoke bibeerenga mu Katonda. 22#1 Yok 5:1Kubanga mumaze okwetukuza obulamu bwammwe mu kugondera amazima olw'okwagalanga ab'oluganda okutaliimu bunnanfuusi, mwagalanenga mu mutima n'okufuba okungi: 23#Dan 6:26, Yok 1:13, Yak 1:18bwe mwazaalibwa omulundi ogw'okubiri, si na nsigo eggwaawo, wabula eteggwaawo, n'ekigambo kya Katonda ekiramu eky'olubeerera.
24 # Is 40:6,7, Yak 1:10,11 Kubanga
Omubiri gwonna guli ng'omuddo,
N'ekitiibwa kyagwo kyonna kiri ng'ekimuli ky'omuddo.
Omuddo guwotoka ekimuli ne kigwa:
25 # Is 40:8 Naye ekigambo kya Mukama kibeerera emirembe n'emirembe. Era ekyo kye kigambo eky'enjiri eky'abajulirwa.

Currently Selected:

1 Peetero 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy