YouVersion Logo
Search Icon

Yakobo 5

5
1 # Luk 6:24 Kale nno mwe abagagga, mukaabe mulire olw'ennaku ezijja ku mmwe. 2#Mat 6:19Obugagga bwammwe buvunze, n'ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. 3#Nge 16:27Ezaabu yammwe ne ffeeza zitalazze; n'obutalagge bwazo buliba mujulirwa gye muli, bulirya omubiri gwammwe ng'omuliro. Mwakuŋŋaanyiza ebintu mu nnaku ez'enkomerero. 4#Leev 19:13, Mal 3:5, Ma 24:14, Is 5:9, Yob 31:38-40Laba, empeera y'abakozi abaakungula ennimiro zammwe, gye mulyazaamaanya, ekaaba: n'ebiwoobe by'abo abakungula byayingira mu matu ga Mukama Ow'eggye. 5#Luk 16:19,25, Yer 12:3Mwesanyusa ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu; mwegezzezza mu mitima gyammwe nga ku lunaku olw'okubaaga ebya ssava. 6Mwasala omusango okusinga omutuukirivu, ne mumutta; naye tabawakanya.
7 # Ma 11:14, Yo 2:23, Zek 10:1, Yer 5:24, Luk 21:19, Beb 10:36 Kale, ab'oluganda, mugumiikirizenga okutuusa okujja kwa Mukama waffe. Laba, omulimi alindirira ebibala eby'ensi eby'omuwendo omungi, abigumiikiriza, okutuusa enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo. 8#Beb 10:25, 1 Bas 2:16; 3:13Era nammwe mugumiikirizenga; munywezenga emitima gyammwe: kubanga okujja kwa Mukama waffe kuli kumpi. 9Temwemulugunyanga, ab'oluganda, mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango: laba, omusazi w'emisango ayimiridde ku luggi. 10#Mat 5:12Mutwale ekyokulabirako, ab'oluganda, eky'okubonyaabonyezebwa n'okugumiikiriza, bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. 11#Dan 12:12, Yob 1:21,22, Zab 103:8; 111:4Laba, tubayita ba mukisa abaagumiikirizanga: mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw'akola, nga Mukama wa kisa kingi n'okusaasira.
12 # Mat 5:34-37 Naye okusinga byonna, baganda bange, temulayiranga newakubadde eggulu, newakubadde ensi, newakubadde ekirayiro ekirala kyonna: naye ekigambo kyammwe weewaawo kibeerenga weewaawo, n'ekigambo kyammwe si weewaawo kibeerenga si weewaawo; muleme okugwa mu musango.
13 # Zab 50:15, Bak 3:16 Waliwo mu mmwe omuntu ali obubi? asabenga. Waliwo asanyuka? ayimbenga eby'okutendereza Katonda. 14#Mak 6:13Waliwo mu mmwe omuntu alwadde? ayitenga abakadde b'ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Mukama waffe: 15#Mak 16:18n'okusaba kw'okukkiriza kulirokola omulwadde, ne Mukama waffe alimuyimusa: era oba nga yakola ebibi birimuggibwako. 16Kale mwatuliraganenga ebibi byammwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo. 17#1 Bassek 17:1, Luk 4:25, Bik 14:15Eriya yali muntu eyakwatibwa byonna nga ffe, n'asaba nnyo enkuba ereme okutonnya; enkuba n'etatonnya ku nsi emyaka esatu n'emyezi mukaaga. 18#1 Bassek 18:42N'asaba nate; eggulu ne litonnyesa enkuba, ensi n'emeza ebibala byayo.
19 # Bag 6:1 Baganda bange, omuntu yenna mu mmwe bw'akyamanga okuva mu mazima, omuntu n'amala amukyusa, 20#Zab 51:13, Nge 10:12, 1 Peet 4:8ategeerenga ng'akyusa alina ebibi mu bukyamu obw'ekkubo lye alirokola obulamu mu kufa, era alibikka ku bibi bingi.

Currently Selected:

Yakobo 5: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy