YouVersion Logo
Search Icon

1 Peetero 2

2
1 # Bef 4:22, Yak 1:21 Kale muteekenga wala obubi bwonna n'obukuusa bwonna n'obunnanfuusi n'obuggya n'okwogera obubi kwonna, 2#1 Kol 3:2, Beb 5:12,13, Mat 18:3ng'abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag'omwoyo agataliimu bulimba, galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu; 3#Zab 34:8oba nga mwalega ku Mukama waffe bw'ali omulungi: 4#Zab 118:22, Is 28:16, Mat 21:42, Bik 4:11nga mujja eri oyo, ejjinja eddamu, eryagaanibwa abantu, naye eri Katonda ddonde, lya muwendo mungi, 5#Bef 2:21,22, Bar 12:1era nammwe ng'amayinja amalamu muzimbibwa ennyumba ey'omwoyo okubeeranga bakabona abatukuvu, okuwangayo ssaddaaka ez'omwoyo, ezisiimibwa Katonda ku bwa Yesu Kristo. 6#Is 28:16, Bar 9:33Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa nti
Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja ekkulu ery'oku nsonda, eddonde, ery'omuwendo omungi:
Era amukkiriza talikwasibwa nsonyi.
7 # Zab 118:22, Mat 21:42 Kale eri mmwe abakkiriza omuwendo mungi: naye eri abatakkiriza,
Ejjinja abazimbi lye baagaana, eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda;
8 # Is 8:14, Bar 9:33 era
Ejjinja eryesittalwako, era olwazi olusuula;
kubanga beesittala ku kigambo nga tebagonda; era kwe baateekerwawo. 9#Is 43:20, Kuv 19:6, Bik 26:18, 2 Kol 4:6, Bef 5:8, Baf 2:15, Kub 1:6Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw'ekitalo: 10#Kos 1:6,9; 2:1,23, Bar 9:25edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda: abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa.
11 # Zab 39:12, Bag 5:17,24, Bef 2:19, Yak 4:1 Abaagalwa, mbeegayirira ng'abayise n'abatambuze, okwewalanga okwegomba kw'omubiri okulwana n'obulamu; 12#Is 10:3, Mat 5:16, Yak 3:13nga mulina empisa zammwe mu b'amawanga ennungi, nga bwe baboogerako ng'abakola obubi, olw'ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw'okulabirwamu.
13 # Bar 13:1-7, Tit 3:1 Mugonderenga buli kiragiro ky'abantu ku bwa Mukama waffe: oba kabaka nga ye asinga bonna; 14oba abaamasaza, nga ye b'atuma olw'okukangavvulanga abakola obubi, n'olw'okusiimanga abakola obulungi. 15#1 Peet 3:16Kubanga Katonda bw'ayagala bw'atyo, mmwe okusirisanga obutamanya bw'abantu abasirusiru nga mukola obulungi: 16#Bag 5:13ng'ab'eddembe, so si ng'abalina eddembe lyammwe olw'okukisa obubi, naye ng'abaddu ba Katonda. 17#Bar 12:10, Nge 24:21, Mat 22:21Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab'oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa kabaka.
18 # Bef 6:5, Tit 2:9 Abaweereza, mugonderenga bakama bammwe mu kutya kwonna, si balungi bokka n'abawombeefu, naye era n'abakambwe. 19Kubanga kino kye kisiimibwa, omuntu bw'agumiikiriza okulumwa olw'okujjukira Katonda, ng'abonyaabonyezebwa awatali nsonga. 20#1 Peet 3:14,17; 4:13,14, Mat 5:10Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda. 21#Mat 16:24, Yok 13:15Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye: 22#Is 53:9, Yok 8:46, 2 Kol 5:21ataakola kibi, newakubadde obukuusa tebwalabika mu kamwa ke: 23bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw'ensonga: 24#1 Yok 3:5, Bar 6:11, Beb 9:28eyeetikka ye yennyini ebibi byaffe mu mubiri gwe ku muti, ffe nga tumaze okufa ku bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri obutuukirivu; okukubibwa kw'oyo kwe kwabawonya. 25#Is 53:5, Ez 34:5, Yok 10:11Kubanga mwali mukyama ng'endiga; naye kaakano mukomyewo eri Omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe.

Currently Selected:

1 Peetero 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy