Zekkaliya 6
6
1Era ate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amagaali ana nga gava wakati w'ensozi ebbiri, n'ensozi ezo zaali za bikomo. 2Eggaali esooka yali ng'esikibwa embalaasi za lukunyu, eyokubiri ng'esikibwa embalaasi enzirugavu,#Zek 1:8 3eggaali ey'okusatu ng'esikibwa embalaasi enjeru ne eggaali ey'okuna yali esikibwa embalaasi eza kikuusikuusi ezitobeseemu obwoya obweru. 4Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti, “ Ebyo bitegeeza ki, Mukama wange?” 5Malayika n'addamu n'aŋŋamba nti, “Ebyo ze mpewo ennya ez'omu ggulu, eziva okweyanjula mu maaso ga Mukama w'ensi zonna.#Zab 104:4, Beb 1:7 6Eggaali eri esikibwa embalaasi enzirugavu evuddeyo okugenda mu nsi ey'obukiikakkono, ate eziva emabega waazo enjeru, n'ezo ezitobeseemu obwoya obweru zivaayo okugenda mu nsi ey'obukiikaddyo.” 7Eza kikuusikuusi zivaayo okugenda zitambuletambule mu nsi; n'azigamba nti, “ Mugende, mutambuletambule mu nsi.” Awo ne zitambulatambula mu nsi. 8Awo n'ankoowoola n'aŋŋamba nti, “Laba, ezo ezigenda mu nsi ey'obukiikakkono ziwummuza Omwoyo gwange nsi ey'obukiikakkono.”
9Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti, 10“Ggya ku abo abaatwalibwa okufugibwa obuddu, ku Kaludai, ne ku Tobiya ne ku Yedaya; naawe ojje ku lunaku luli oyingire mu nnyumba ya Yosiya, omwana wa Zeffaniya, mwe batuuse nga bavudde e Babbulooni;#2 Bassek 25:18 11era obaggyeko effeeza n'ezaabu obakolere engule ozitikkire ku mutwe gwa Yosuwa, omwana wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu; 12omugambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba Yeekaalu ya Mukama; 13oyo ye alizimba Yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n'okuteesa okw'emirembe kulibeera wakati waabwe bombi.’ ”#Zab 21:5; 110:4, Ez 21:27 14N'engule ezo ziribeera za Keremu ne Tobiya ne Yedaya ne Keeni, omwana wa Zeffaniya, ez'okubajjukiza mu Yeekaalu ya Mukama. 15“ Era abaali ewala balijja balizimba mu Yeekaalu ya Mukama, era mulitegeeza nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. N'ebyo biriba, oba nga mulinyiikira okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.”#Ma 30:1-3, Is 60:10, Zek 2:9
Currently Selected:
Zekkaliya 6: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.