YouVersion Logo
Search Icon

Zekkaliya 5

5
1Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga.#Yer 36:2,28 2N'aŋŋamba nti, “ Kiki ky'olaba?” Ne nziramu nti, “Ndabye omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga, obuwanvu bwagwo emikono abiri n'obugazi bwagwo emikono kkumi (10).”#Ez 2:9,10 3N'aŋŋamba nti, “Ekyo kye kikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga ng'ekyo bwe kiri, buli abba aliggibwawo era buli alayira eby'obulimba aliggibwawo bamulaze ku luuyi olulala.#Kuv 20:7,15, Ma 29:17 4Ndikifulumya, bw'ayogera Mukama w'eggye; era kiriyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu nnyumba y'oyo alayira obwereere erinnya lyange, era kirisula mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza n'emiti gyayo n'amayinja gaayo.”#Nge 3:33
5Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti, “Kale yimusa amaaso go, olabe ekirala ekijja.” 6Nemubuuza nti, “Ekyo kiki?” N'anziramu nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”#Ez 45:11 7Awo ekibikka kyakyo, ekyuma eky'essasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ng'akituddemu. 8N'aŋŋamba nti, “Ono bwe Bubi.” N'amusindika n'amuzzamu munda mu kisero, n'aggalawo omumwa gwakyo n'ekisaanikira eky'ekyuma eky'essasi. 9Awo ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, abakazi ababiri ne bafuluma, empewo nga ziri mu biwaawaatiro byabwe; era baalina ebiwaawaatiro ng'ebiwaawaatiro ebya kasida; ne basitula ekisero mu bbanga ly'ensi n'eggulu. 10Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?” 11N'anziramu nti, “ Mu nsi ya Sinaali okumuzimbira ennyumba, nayo bw'eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye ye.”

Currently Selected:

Zekkaliya 5: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in