Zekkaliya 4
4
1Malayika eyali ayogera nange n'akomawo, n'anzuukusa ng'omuntu bw'azuukusibwa mu tulo twe.#Dan 8:18; 10:9,10 2N'aŋŋamba nti, “Olabye ki?” Ne njogera nti, “Ndaba ekikondo eky'ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu waakyo kuliko akabakuli, n'ettaala zaakyo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo.#Kuv 25:31,37, Kub 1:12; 4:5 3Era waliwo n'emizeyituuni ebiri ku mabbali gaakyo, ogumu ku mukono ogwa ddyo ogw'akabakuli, n'omulala ku mukono gwakyo ogwa kkono.”#Kub 11:4 4Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange ne njogera nti, “Ebyo biki, mukama wange?” 5Malayika eyali ayogera nange n'addamu n'aŋŋamba nti, “Tomanyi ebyo bwe biri?” Ne muddamu nti, “Nedda, mukama wange.” 6N'addamu n'aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: nga kyogera nti, Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bw'ayogera Mukama w'eggye.#Kos 1:7, Kag 1:1 7Ggwe olusozi olunene, weeyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi era alireeta ejjinja erya waggulu ne balirangirira nti ‘Liweebwe ekisa, liweebwe ekisa’”#Is 40:4 8Nate ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti, 9“Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwe ennyumba eyo, era n'emikono gye girigimala; era olitegeera nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli.#Ez 3:10, Zek 2:9 10Kubanga ye ani anyoomye olunaku olw'ebitono? Kubanga balisanyuka era baliraba ejjinja erigera mu ngalo za Zerubbaberi, bano omusanvu, ge maaso ga Mukama; agayitaayita mu nsi zonna.”#2 Byom 16:9, Kag 2:3, Zek 3:9 11Ne ndyoka mubuuza nti, “ Emizeyituuni gino ebiri ku mukono ogwa ddyo ogw'ekikondo eky'ettaala ne ku mukono gwakyo ogwa kkono gitegeeza ki?” 12Ne nnyongera okumubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Amatabi gano abiri ag'emizeyituuni agali ku mabbali g'emimwa ebiri egya zaabu agayitamu amafuta aga zaabu gategeeza ki?” 13N'anziramu nti, “Tomanyi ago kye gategeeza?” Ne nziramu nti, “Nedda, mukama wange.” 14Awo n'addamu nti, “Ago be baana babiri abaafukibwako amafuta abayimirira awali Mukama w'ensi zonna.”
Currently Selected:
Zekkaliya 4: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.