YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 4

4
Ekyokulabirako ekya Ibulayimu
1Kale kiki kye tunaayogera ku Ibulayimu jjajjaffe kye yalaba mu mubiri? 2Kubanga Ibulayimu singa yaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa, singa alina ekimwenyumirizisa; naye talina mu maaso ga Katonda. 3Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu. #Lub 15:6, Bag 3:6, Yak 2:23 4Kale, omukozi empeera ye temuweebwa ng'ekirabo, naye ng'ekyo kyateekwa okuweebwa. #Bar 11:6, Mat 20:7,14 5Naye atakola, kyokka n'akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu. 6Era ne Dawudi alangirira omukisa ku muntu, Katonda gw'abalira obutuukirivu awatali bikolwa, nti,#Zab 32:1,2
7“Baweereddwa omukisa abaggibwako ebyonoono byabwe,
Ebibi byabwe byabikkibwako.
8Aweereddwa omukisa omuntu Mukama gw'atalibalira kibi.”
9Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bokka, oba nantiki ne ku abo abatali bakomole? Kubanga tugambye nti okukkiriza kwe kwabalirwa Ibulayimu okuba obutuukirivu.#Lub 15:6 10Kale kwabalwa kutya? bwe yali ng'akomoleddwa, nantiki bwe yali nga tannakomolebwa? Si bwe yali ng'akomoleddwa, naye nga tannakomolebwa: 11n'aweebwa ekyokulabirako eky'okukomolebwa, akabonero k'obutuukirivu obw'okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa: alyoke abeerenga jjajjaabwe bonna abakkiriza nga si bakomole, babalirwenga obutuukirivu.#Lub 17:10,11 12Era ye jjajja w'abakomole, so si w'abo abakomole obukomozi, naye abatambulira mu bigere by'okukkiriza kwa jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.#Mat 3:9, 1 Peet 2:21, 2 Kol 12:18
Katonda bye yasuubiza bifunibwa bakkiriza
13Kubanga okusuubiza tekwaweerwa Ibulayimu newakubadde ezzadde lye mu mateeka, nti alibeera musika wa nsi zonna, wabula mu butuukirivu obw'okukkiriza.#Lub 18:18; 22:17,18 14Kubanga ab'omu mateeka singa be basika, okukkiriza singa kudibye, era n'okusuubiza singa kuggiddwawo. 15Kubanga amateeka galeeta obusungu; naye awatali mateeka, era tewabaawo kwonoona.#Bar 3:20; 5:13; 7:8,10 16Kale ebyo Katonda bye yasuubiza bisinzira mu kukkiriza, okusuubiza kulyoke kubeerenga kwa kisa, era kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna. 17Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w'amawanga amangi,” mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ng'ebiriwo.#Lub 17:5, Is 48:13 18Ibulayimu yakkiriza n'asuubira awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti, “Ezzadde lyo liriba bwe lityo.”#Lub 15:5 19N'atanafuwa mu kukkiriza bwe yalowooza omubiri gwe nga gulinga ogufudde, kubanga yali awezezza emyaka nga kikumi (100), era nga ne Saala mugumba. #Lub 17:17 20Teyalekayo kukkiriza, era teyabuusabuusa mu ebyo Katonda bye yamusuubiza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda,#Beb 11:7,11,34 21era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola. 22Era kyekwava kumubalirwa okuba obutuukirivu.#Lub 15:6 23Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti, “kwamubalirwa;”#Bar 15:4 24naye era ne ku lwaffe, abagenda okubalirwa, abakkiriza mu oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu, #1 Peet 1:21 25eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu.#Is 53:4,5, 1 Kol 15:17

Currently Selected:

Abaruumi 4: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in