Naye oba ng'amatabi agamu gaawogolebwako, naawe, eyali omuzeyituuni ogw'omu nsiko, n'osimbibwa mu kifo kyago, ogabane ku bugagga obw'omuzeyituuni; teweenyumiririzanga ku matabi ago. Bw'oba weenyumiriza, jjukira nti si ggwe owanirira ekikolo, naye ekikolo kye kiwanirira ggwe.