Abaruumi Ennyanjula
Ennyanjula
Omutume Pawulo yawandiika ebbaluwa eno eri abakristaayo abali mu Ruumi, ayinza okuba nga yagiwandiika bwe yali mu Kkolinso ku lugendo lwe olwokusatu, 57 AD (Bik 20:2-3). Ebbaluwa eno etegeeza nti, ku musalaba gwa Kristo, Katonda asalira omwonoonyi omusango, so nga era ku musalaba ogwo Katonda atulaga okusaasira kwe okulokola. Pawulo yawandiika okugatta awamu mu Njiri abakristaayo Abayudaaya ne bannamawanga abali mu Ruumi. Yayagala era akozese Ruumi nga ekifo wanaasinziranga okubuulira Enjiri mu Esupaniya, Bar 15:22-24. Ekigendererwa ekikulu eky'okubuulira Enjiri kwe kulabisa ekitiibwa kya Katonda, (Bar 11:33-36). Pawulo yayagala nnyo bannamawanga okufuuka abakristaayo abagondera Katonda olw'erinnya lya Kristo.
Ebiri mu bbaluwa
I. Enjiri ebikkula obutuukirivu bwa Katonda (1:1-17).
II. Obutuukirivu bwa Katonda n'obusungu eri aboonoonyi (1:18—3:20).
III. Obutuukirivu bwa Katonda obulokola (3:21—4:25).
IV. Essuubi eriva mu butuukirivu obw'okukkiriza (5:1—8:39).
V. Obutuukirivu bwa Katonda eri Isiraeri n'eri ab'amawanga (9:1—11:36).
VI. Obutuukirivu mu mbeera eza bulijjo (12:1—15:13).
VII. Obutuukirivu bwa Katonda mu kuyigiriza kwa Pawulo (15:14—16:24).
VIII. Ebisembayo (16:25-27).
Currently Selected:
Abaruumi Ennyanjula: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.