YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 98

98
Zabbuli.
Okutendereza obwesigwa bwa Katonda
1Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya;
Kubanga akoze eby'amagero:
Engalo ze eza ddyo,
n'omukono gwe omutukuvu bimuleetedde obulokozi.#Kuv 15:6, Zab 33:3; 96:3, Is 59:16, Luk 1:51
2Mukama amanyisizza obulokozi bwe:
Obutuukirivu bwe abwolekerezza ddala mu maaso g'amawanga.#Is 52:10; 62:2, Luk 2:30,31, Bar 3:25,26
3Ajjukidde okusaasira kwe n'obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isiraeri:
Enkomerero zonna ez'ensi zirabye obulokozi bwa Katonda waffe.#Ma 4:31, Is 49:6, Luk 1:54,72; 3:6
4Muyimbe n'eddoboozi ery'essanyu
eri Mukama, mmwe ensi zonna:
Muleete oluyimba muyimbe olw'essanyu, weewaawo, muyimbe eby'okutendereza.#Zab 66:1, Is 44:23
5Muyimbe okutendereza Mukama n'ennanga;
N'ennanga era n'eddoboozi eriyimba.
6N'amakondeere n'eddoboozi ery'akagombe
Muleete eddoboozi ery'essanyu
mu maaso ga Kabaka, Mukama.#Kubal 10:10, 1 Byom 15:28
7Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo;
Ensi zonna, n'abo abazituulamu;#Zab 24:1; 96:11
8Amazzi gakube mu ngalo;
Ensozi ziyimbire wamu olw'essanyu;#Zab 89:12, Is 55:12
9Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango:
Alisalira ensi emisango egy'ensonga,
Aliramula amawanga n'obutuukirivu.

Currently Selected:

Zabbuli 98: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in