Zabbuli 88
88
Oluyimba, zabbuli ya batabani ba Koola; ya mukulu w'abayimbi; ey'ekimakalasu-Leyanosi. Masukiri ya Kemani Omuzera.
Okusaba ng'oweddemu essuubi
1Ayi Mukama, Katonda ow'obulokozi bwange,
Nkaabira emisana n'ekiro mu maaso go,#Zab 22:2; 24:5, Luk 18:7
2Okusaba kwange kuyingire w'oli;
Otege okutu kwo eri okukaaba kwange.
3Kubanga emmeeme yange ejjudde ennaku,
N'obulamu bwange busemberera emagombe.#Zab 107:18
4Bambalira wamu n'abo abakka mu bunnya;
Nninga omuntu atalina mubeezi,#Zab 28:1
5Asuulibwa mu bafu,
Ali ng'abattibwa abagalamira mu ntaana,
B'otojjukira nate;
Era bayawukana n'omukono gwo.#Zab 31:12
6Ontadde mu bunnya obuli wansi ennyo,
Mu bifo eby'enzikiza, mu buziba.#Zab 143:3; 42:7
7Obusungu bwo bunyigiriza nnyo,
Era ombonyaabonyezza n'amayengo go gonna. (Seera)
8Onjawukanyirizza wala n'abo be mmanyi;
Onfudde ekitama eri abo,
Nsibiddwa, so siyinza kuvaamu.#Yob 19:13; 30:10, Yer 32:2
9Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala,
Nkukaabira buli lunaku, Ayi Mukama,
Ntega engalo zange eri ggwe.#Yob 11:13, Zab 6:7
10Oliraga abafu eby'amagero?
Abaafa baligolokoka balikutendereza?#Zab 6:5
11Ekisa kyo kiribuulirirwa mu magombe?
N'obwesigwa bwo mu kuzikirira?
12Eby'amagero byo birimanyirwa mu kizikiza?
N'obutuukirivu bwo mu nsi ey'okwerabira?#Yob 10:21, Mub 9:5
13Naye ggwe, Ayi Mukama, gwe nkaabira,
Era buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga mu maaso go.#Zab 5:3
14Mukama, kiki ekikusuuza
emmeeme yange?
Kiki ekikunkwesa amaaso go?#Yob 13:24
15Mbonyaabonyezebwa, nfaanana okufa okuva mu buto bwange.
Entiisa zo bwe zimbaako,
ne nneeraliikirira nnyo.#Yob 6:4; 9:34
16Obusungu bwo obukambwe buntuuseeko;
Entiisa zo zinzingizizza.
17Banneetooloola ng'amazzi okuzibya obudde;
Bantaayiza eruuyi n'eruuyi wamu.#Zab 118:10
18Abanjagala ne mikwano gyange obaatadde wala nange,
N'abo be mmanyi mu kizikiza.#Yob 19:13,14
Currently Selected:
Zabbuli 88: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.