Zabbuli 82
82
Zabbuli ya Asafu.
Katonda omulamuzi
1Katonda ayimirira mu lukiiko olutukuvu,
Asala emisango mu bakatonda.#Yos 22:16,17, Mub 5:8
2Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga,
N'okusalirizanga ababi?#Ma 1:17, Nge 18:5 (Seera)
3Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe;
Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu.#Zab 10:18, Yer 22:3
4Muwonyenga omwavu n'oyo eyeetaaga,
Mubalokolenga mu mukono gw'omubi.#Yob 29:12, Nge 24:11
5Tebaamanya so tebategeera;
Batambulatambula mu kizikiza.
Emisingi gyonna egy'ensi gisagaasagana.#Zab 11:3; 14:4, Nge 2:13
6N'ayogera nti Muli bakatonda,
Era mwenna muli baana b'oyo ali waggulu ennyo.#Yok 10:34
7Era naye munaafanga ng'abantu,
Era munaagwanga ng'omu ku balangira.#Yob 21:32, Ez 28:2-10
8Golokoka, Ayi Katonda, osalire ensi omusango,
Kubanga amawanga gonna gago.#Zab 2:8; 12:5, Kub 11:15
Currently Selected:
Zabbuli 82: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.