YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 81

81
Ya mukulu w'abayimbi; ey'e Kigaasi. Zabbuli ya Asafu.
Okutendereza Katonda
1Muyimbirenga waggulu eri Katonda amaanyi gaffe;
Muleetenga eddoboozi ery'essanyu eri Katonda wa Yakobo.#Zab 66:1
2Mwanukulenga oluyimba,
muleetenga ekitaasa,
Ennanga ennungi era n'amadinda.#Kuv 15:20, Zab 33:2
3Mufuuwenga ekkondeere omwezi nga kye gujje guboneke,
Omwezi nga gwa ggabogabo,
ku lunaku lwaffe olutukuvu olw'embaga.#Leev 23:24, Kubal 10:10
4Kubanga eryo lye tteeka eri Isiraeri,
Ekiragiro kya Katonda wa Yakobo.
5Yakiteeka mu Yusufu okuba obujulirwa,
Bwe yabuna ensi y'e Misiri:
Gye nnawulirira olulimi lwe ssaamanya.#Kuv 11:4, Zab 78:5; 114:1
6N'aggya ekibegabega kye ku mugugu:
Engalo ze ne zisumattulwa mu bibbo.#Kuv 1:11
7Wakoowoola bwe wali mu nnaku,
nange ne nkuwonya;
Ne nkuddiramu mu kifo eky'ekyama eky'okubwatuka;
Nakukemera ku mazzi ag'e Meriba.#Kuv 2:23; 14:10; 19:19, Kubal 20:13 (Seera)
8Muwulire, mmwe abantu bange, nange n'abategeeza;
Ggwe Isiraeri, singa okkiriza okumpulira!#Zab 50:7
9Temuubeenga katonda munnaggwanga mu ggwe;
So toosinzenga katonda munnaggwanga yenna.#Kuv 20:3, Is 43:12
10Nze Mukama Katonda wo,
Eyakuggya mu nsi y'e Misiri;
Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza.#Kuv 20:2
11Naye abantu bange tebaawulira ddoboozi lyange;
So Isiraeri teyanjagala n'akatono.#Kuv 32:1, Nge 1:30
12Nange ne mbaleka okugoberera obukakanyavu bw'omutima gwabwe,
Batambulirenga mu kuteesa kwabwe bo.#Yer 7:24, Bik 7:42, Bar 1:24
13Singa abantu bange bakkiriza okumpulira,
Singa Isiraeri akkiriza okutambulira mu makubo gange!#Mat 5:29, Is 48:18, Mat 23:37
14Nandiwangudde mangu abalabe baabwe,
Nandikyusizza omukono gwange ku abo abalwana nabo.
15Abakyawa Mukama bandimujeemulukukidde;
Naye ekiseera kyabwe kyandibadde kya mirembe gyonna.#Zab 18:44
16Era yandibaliisizza n'obugimu obw'eŋŋaano;
Era nandikukkusizza n'omubisi gw'enjuki oguva mu jjinja.#Ma 32:13,14, Zab 147:14

Currently Selected:

Zabbuli 81: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 81