Zabbuli 77
77
Ya mukulu w'abayimbi; ng'engeri bw'eri eya Yedusuni. Zabbuli ya Asafu.
Okukoowoola Katonda mu bwetaavu
1Nnaakabiranga nnyo Katonda,
mukabira nnyo, asobole okumpulira,#Zab 3:4
2Ku lunaku olw'okunakuwala
kwange nanoonya Mukama;
Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira;
Emmeeme yange n'egaana okusanyusibwa.#Zab 50:15; 86:7; 143:6, Is 26:9
3Njijukira Katonda, ne nneeraliikirira;
Nfuumitiriza, omwoyo gwange ne guzirika.#Zab 43:5; 61:2; 142:3; 143:4 (Seera)
4Oziyiza maaso gange okuzibirira;
Ntegana bwe nti n'okuyinza ne ssiyinza kwogera.
5Ndowoozezza ennaku ez'edda,
Emyaka egy'ebiro eby'edda.#Ma 32:7, Zab 143:5, Is 51:9
6Njijukira oluyimba lwange ekiro,
Ne nteesa ebigambo n'omutima gwange nzekka;
N'omwoyo gwange gwanoonyeza ddala.#Zab 4:4; 42:8
7Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna?
Era anaaba nga takyalina kisa nate?#Zab 44:9
8Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna?
Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n'emirembe?#Yer 15:18, Bar 9:6
9Katonda yeerabidde okuba n'ekisa?
Asibye okusaasira kwe okulungi
mu busungu?#Is 49:15, Kaab 3:2 (Seera)
10Nange ne njogera nti Obwo bwe bunafu bwange;
Naye najjukiranga emyaka egy'omukono ogwa ddyo gw'oyo ali waggulu ennyo.#Yer 10:19
11Nnaayongeranga ku bikolwa bya Mukama;
Kubanga najjukiranga eby'ekitalo byo eby'edda.#Zab 105:5
12Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna,
Era nnaafumiitirizanga ebikolwa byo.
13Ekkubo lyo, Ayi Katonda, ttukuvu,
Katonda ki oyo, asinga Katonda waffe?#Zab 35:10
14Ggwe Katonda akola eby'amagero,
Wamanyisa amaanyi go mu mawanga.#Zab 72:18; 106:8
15Wanunula abantu bo n'omukono gwo,
Abaana ba Yakobo ne Yusufu.#Kuv 6:6, Ma 9:29 (Seera)
16Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
Amazzi gaakulaba, ne gatya,
Era n'obuziba ne bukankana.#Kuv 14:21, Yos 3:15,16, Zab 114:3, Kaab 3:10
17Ebire ne bitonnya amazzi;
Eggulu ne libwatuka,
Era n'obusaale bwo ne bubuna.#Zab 18:14
18Eddoboozi ery'okubwatuka kwo ne liba mu kikuŋŋunta;
Okumyansa ne kumulisa ebintu byonna,
Ensi n'ekankana n'eyuuguuma.#Zab 97:4; 104:7
19Ekkubo lyo lyali mu nnyanja.
N'empenda zo zaali mu mazzi amangi.
N'ebigere byo tebyamanyika.#Kaab 3:15
20Waluŋŋamyanga abantu bo ng'endiga,
Mu mukono gwa Musa ne Alooni.#Kuv 13:21, Is 63:11,12
Currently Selected:
Zabbuli 77: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.