YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 75

75
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekyalutasutesi. Zabbuli ya Asafu, oluyimba.
Katonda omulamuzi
1Tukwebaza, Ayi Katonda;
Twebaza kubanga erinnya lyo liri kumpi:
Abantu boogera ku bikolwa byo eby'ekitalo.#Zab 145:18
2Bwe ndiraba ebiro ebyateekebwawo,
Ndisala emisango egy'ensonga.#Zab 102:13, Dan 8:19, Kaab 2:3
3Ensi n'abantu bonna abagituulamu biweddewo,
Nze nsimbye empagi zaayo.#1 Sam 2:8, Is 24:9 (Seera)
4N'agamba ab'egulumiza nti, “Temwegulumiza,”
N'ababi nti, “Temuyimusanga jjembe”#Zab 94:4, Zek 1:21
5Temuyimusanga waggulu jjembe lyammwe
Temwogeranga n'ensingo enkakanyavu.
6Kubanga okugulumizibwa tekuva buvanjuba,
Newakubadde ebugwanjuba, newakubadde obukiikaddyo.#Zab 3:3
7Naye Katonda ye mulamuzi,
Atoowaza ono, n'oli amugulumiza.#1 Sam 2:7, Zab 50:6, Dan 2:21, Luk 1:52
8Kubanga mu mukono gwa Mukama ekikompe mwe kiri,
n'omwenge gwamu guliko ejjovu;
Kijjudde ogutabuddwamu, n'akifuka;
Mazima ebbonda lyagwo ababi bonna ab'ensi balirikutamira, balirinywa.#Yob 21:20, Zab 73:10, Yer 25:15, Kub 14:10
9Naye nze nnaasanyukanga emirembe gyonna,
Nnaayimbanga okutendereza Katonda wa Yakobo.
10Era amaanyi gonna ag'ababi naagazikirizanga;
Naye amaanyi g'abatuukirivu ganaagulumizibwanga.#1 Sam 2:1, Zab 89:17, Yer 48:25

Currently Selected:

Zabbuli 75: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 75