YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 51

51
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi: Nasani nnabbi bwe yajja gy'ali, bwe yali ng'amaze okwenda ne Basuseba.
Ekibi n'okusonyiyibwa
1Onsaasire, Ayi Katonda, mu kisa kyo;
Olw'okusaasira kwo okungi sangula ebyonoono byange byonna.#Zab 106:45, Is 44:22, Bik 3:19
2Onnaalize ddala mu bubi bwange,
Onnongoose mu kwonoona kwange.#Yer 4:14, Bik 22:16, Beb 9:14, 1 Yok 1:7
3Kubanga njatula ebyonoono byange;
N'ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo.#Zab 32:5
4Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona.
Ne nkola ekibi mu maaso go:
Obeere omutuukirivu bw'oyogera,
Osinge omusango bw'osala.#Lub 39:9, 2 Sam 12:13, Luk 15:18,21, Bar 3:4
5Laba, nze nnatondebwa mu bubi;
Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.#Yob 15:14, Bar 5:12,19
6Laba, ggwe oyagala eby'omunda eby'amazima;
Era mu mwoyo ogutalabika on'ommanyisa amagezi.#Yob 38:36
7Ontukuze n'ezobu, nange nnaaba mulongoofu;
Onnaaze, nange nnaaba mutukuvu okusinga omuzira.#Leev 14:4,6,7, Zab 51:2, Is 1:18
8Ompulize essanyu n'okwesiima;
Amagumba ge wamenya gasanyuke.
9Okise amaaso go mu bibi byange,
Osangule ebyonoono byange byonna.#Yer 16:17, 1 Sam 10:9, Zab 24:4; 78:37, Yer 24:7, Ez 36:26
10Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda;
Onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange.#1 Sam 10:9, Zab 24:4; 78:37, Yer 24:7, Ez 36:26
11Tongoba w'oli;
So tonziggyaako omwoyo gwo omutukuvu.#Lub 4:14, 2 Bassek 13:23, Yer 7:15
12Onkomezeewo essanyu ery'obulokozi bwo,
Onnyweze n'omwoyo ogw'eddembe.#Bar 8:15, 2 Kol 3:17
13Ne ndyoka njigiriza amakubo go aboonoonyi;
N'abalina ebibi balikyukira gy'oli.#Luk 22:32
14Omponye mu musango gw'omusaayi, Ayi Katonda, ggwe Katonda ow'obulokozi bwange;
Olulimi lwange luliyimba nnyo obulokozi bwo.#2 Sam 11:17; 12:19, Zab 24:5; 71:15
15Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange;
N'akamwa kange kalyolesa ettendo lyo.
16Kubanga tosanyukira ssaddaaka; naandizikuwadde;
Ebiweebwayo ebyokebwa tebikusanyusa.#Zab 40:6
17Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese;
Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ayi Katonda, toogugayenga.#Zab 34:18
18Okole bulungi Sayuuni, nga bw'oyagala;
Okolere Yerusaalemi bbugwe.
19N'olyoka osanyukira ssaddaaka ez'obutuukirivu,
eby'okwokya n'eby'okwokya ebiramba;
Ne balyoka bawaayo ente ku kyoto kyo.#Ma 33:10, Zab 4:5, Mal 3:3, 2 Byom 19:3, Zab 102:19

Currently Selected:

Zabbuli 51: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in