Zabbuli 50
50
Zabbuli ya Asafu.
Katonda ye mulamuzi
1Omuyinza wa byonna, Katonda, Mukama, ayogedde,
N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba.
Katonda amasamasa.#Zab 113:3
2Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde,
Katonda amasamasizza.#Ma 33:2, Zab 48:2; 80:1
3Katonda waffe alijja, so talisirika;
Mu maaso ge waliwo omuliro ogwaka,
Okumwetooloola waliwo omuyaga mungi.#Kuv 19:16, Zab 21:9
4Alikoowoola eggulu waggulu,
N'ensi, alyoke asalire abantu be omusango;#Ma 32:1, Is 1:2, Mi 6:1,2
5Mukuŋŋaanyize wendi abatukuvu bange;
Abaalagaana nange endagaano n'essaddaaka.#Lub 15:9-18, Kuv 24:7,8
6N'eggulu liribuulira obutuukirivu bwe;
Kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini!#Zab 75:7; 97:6 (Seera)
7Muwulire, abantu bange, nange naayogera;
Ggwe Isiraeri, nange nnaakutegeeza;
Nze Katonda, Katonda wo.#Kuv 20:2, Zab 81:8
8Siikunenye lwa ssaddaaka zo;
N'ebyokebwa byo biri mu maaso gange bulijjo.#Zab 40:6
9Siriggya sseddume mu nnyumba yo.
Newakubadde embuzi ennume mu bisibo byo.
10Kubanga buli nsolo ey'omu kibira yange,
N'ente ku nsozi lukumi (1,000).
11Ennyonyi zonna ez'oku nsozi nzimanyi;
N'ensolo ez'omu nsiko zange.#Mat 10:29
12Singa nnumwa enjala, sandikubuulidde;
Kubanga ensi yange, n'okujjula kwayo.#Zab 24:1
13Nze naalyanga ennyama eya sseddume,
Oba nnaanywanga omusaayi gw'embuzi?
14Owenga Katonda ssaddaaka ey'okwebaza;
Osasulenga obweyamo bwo eri oyo ali waggulu ennyo;#Kubal 30:2, Zab 22:25; 107:22, Mub 5:4, Kos 14:2, Yon 2:9, Beb 13:15
15Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku;
Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze.#Zab 22:23; 81:7; 107:6, Zek 13:9
16Naye omubi Katonda amugamba nti
Ofaayo ki okubuulira amateeka gange,
Oba okutwala endagaano yange ku mimwa gyo?
17Kubanga okyawa okuyigirizibwa,
N'ebigambo byange obisuula emabega bo.#Nek 9:26, Bar 2:21,22
18Bwe walaba omubbi walagaana naye,
Era wassa ekimu n'abenzi.#Bar 1:32, 1 Tim 5:22
19Owaayo akamwa ko eri obubi,
N'olulimi lwo lwogera eby'obulimba.#Zab 52:2
20Otuula ng'ovuma muganda wo;
Era owaayiriza omwana wa nnyoko.
21Ebyo wabikola, nange ne nsirika;
N'olowooza nga nnenkanankanira
ddala naawe:
Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go.#Mub 8:11, Is 57:11, Bar 2:4
22Kale mulowooze kino, mmwe abeerabira Katonda,
Nneme okubataagulataagula,
okubulawo alibawonya!#Zab 7:2; 9:17
23Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza;
Naye alongoosa obulungi ekkubo lye
Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.#Zab 50:14,15; 91:16
Currently Selected:
Zabbuli 50: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.