YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 49

49
Ya mukulu w'abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola.
Obugagga tebununula muntu
1Mukiwulire kino, mmwe abantu bonna;
Mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi.#Is 1:2, Mi 1:2
2Abakopi era n'abeebitiibwa,
Abagagga awamu n'abaavu!
3Akamwa kange kanaayogera amagezi;
Okulowooza kw'omutima gwange kunaaba okumanya.
4Nnaakyusa okutu kwange okuwuliriza olugero:
Nnaabikkula ekigambo ekitategeerekeka n'ennanga.#Zab 78:2
5Lwaki nze okutya mu nnaku ez'akabi,
Obutali butuukirivu bwa balabe bange nga buneetooloodde,
6Abeesiga obugagga bwabwe,
Ne beenyumiriza olw'ebintu byabwe ebingi?#Zab 52:7, Nge 11:28, Mak 10:24
7Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n'akatono,
Newakubadde okuwa Katonda omuwendo ogw'obulamu bwe,#Mat 16:26
8Kubanga okununula emmeeme ye kwa muwendo,
tewali kusasula kuyinza kumala,#Yob 36:18,19
9Alyoke awangaalenga ennaku zonna,
Aleme okulaba obunnya,#Zab 16:10; 89:48
10Kubanga alaba ng'ab'amagezi bafa,
Atamanyi n'omusirusiru bazikirira wamu,
N'obugagga bwabwe ne babulekera abalala.#Zab 39:6, Mub 2:16
11Entaana zaabwe ge maka gaabwe, mwe balisigala ennaku zonna;
Ebifo byabwe bya mirembe gyonna;
Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo.#Lub 4:17
12Naye omuntu tabeerera mu kitiibwa,
Ali ng'ensolo ezizikirira.#Zab 82:7, Mub 3:19
13Eno yenkomerero y'abo abalina obwesige obw'obusirusiru,
Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe.#Zab 75:7; 97:6 (Seera)
14Bateegekeddwa okuttibwa ng'endiga;
Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe;
Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya;
Emibiri gyabwe tegirirwawo okuvunda,
Emagombe ye eriba amaka gaabwe.#Yob 24:19, Dan 7:22, Mal 4:3, 1 Kol 6:2, Kub 2:26
15Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe;
Kubanga ye alintwala ewuwe. #Zab 16:10, Kos 13:14(Seera)
16Totyanga ggwe omuntu bw'agaggawala,
Ekitiibwa eky'ennyumba ye bwe kyeyongera.
17Kubanga bw'alifa talitwala kintu;
Ekitiibwa kye tekirikka naye mu ntaana.#Yob 27:19, 1 Tim 6:7
18Newakubadde nga yayita emmeeme ye ey'omukisa bwe yali ng'akyali mulamu,
Era abantu bakutendereza bwe weekolera wekka obulungi,#Ma 29:19, Luk 12:19
19Naye alikka mu magombe eri bajjajja be;
Tebaliraba musana nate.
20Omuntu alina ekitiibwa n'atakitegeera,
Ali ng'ensolo ezizikirira.

Currently Selected:

Zabbuli 49: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in