YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 22

22
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekya Ayijeresi-kassakali. Zabbuli ya Dawudi.
Okusaba okuyambibwa mu kunyigirizibwa
1Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?
Lwaki okunneesamba n'otonnyamba,
n'otowulira kukaaba kwange?#Zab 38:8, Mat 27:46, Mak 15:34, Beb 5:7
2Ayi Katonda wange, nkoowoola emisana, naawe n'otoddamu!
Era n'ekiro, so ssisirika.#Zab 88:1
3Naye ggwe oli mutukuvu,
Ggwe atuula mu matendo ga Isiraeri.#Leev 19:2, Zab 80:1; 147:12
4Bajjajjaffe baakwesiganga ggwe:
Baakwesiganga, naawe n'obawonya.
5Baakukoowoolanga ggwe,
ne bawonyezebwanga:
Baakwesiganga ggwe,
ne batakwasibwanga nsonyi.#Balam 3:9, Zab 25:2, Bar 9:33
6Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, so ssiri muntu.
Abantu bonna banvuma,
bannyooma.#Yob 15:6, Zab 69:19, Is 53:3
7Bonna abandaba bansekerera ne banduulira:
Bansooza n'emimwa gyabwe,
banyeenya omutwe, nga boogera nti:#2 Bassek 19:21, Zab 109:25, Mak 15:29-32
8“Yeesiga Mukama, kale ye amulokole:
Amuwonye, kubanga amwagala.”#Zab 18:19; 37:5; 91:14, Mak 1:11
9Naye ggwe wanzigya mu lubuto lwa mmange,
Ggwe wankuuma bwe nnali nga
Nkyayonka.#Zab 71:6
10Nneesiga ggwe okuviira ddala mu kuzaalibwa kwange.
Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange.#Is 49:1, Bag 1:15
11Tombeera wala,
kubanga akabi kali kumpi,
Kubanga tewali anannyamba.#Zab 10:1, Is 63:5
12Abalabe bangi banneetoolodde,
Balinga zisseddume ez'amaanyi ez'e Basani banzingizizza.
13Banjasamidde akamwa kaabwe,
Ng'empologoma etaamye ewuluguma.#Yob 16:10, Zab 35:21, 1 Peet 5:8
14Ninga amazzi agayiise ku ttaka,
N'amagumba gange gonna gasowose.
Omutima gwange guli ng'obubaane;
Gusaanuukidde mu kifuba kyange.#Yos 2:11, Nak 2:10
15Amaanyi gange gakaliridde ng'oluggyo,
N'olulimi lwange lwegatta n'emba zange,
Ondese nfiire mu nfuufu.#Yob 29:10, Nge 17:22, Yok 19:28
16Kubanga embwa zinneetoolodde:
Ekibiina ky'abo abakola obubi bantaayizizza.
Bawummudde engalo zange n'ebigere byange.#Mak 15:24, Luk 24:40, Yok 19:23; 20:20,25
17Nnyinza okubala amagumba gange gonna.
Bantunuulira, banvulumulira amaaso.#Mat 27:36, Luk 23:35
18Bagabana ebyambalo byange,
Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange.#Mat 27:35, Mak 15:24, Luk 23:34, Yok 19:23,24
19Naye tobeera wala, ayi Mukama.
Ayi ggwe annyamba, yanguya okunziruukirira.#Zab 38:22
20Mponya ekitala,
Obulamu bwange buwonye embwa.#Zab 35:17, Ez 34:14, Yok 10:9
21Ondokole eri empologoma,
N'obulamu bwange okuva mu mayembe g'embogo.#2 Tim 4:17
22Nnaabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange,
Wakati mu kibiina nnaakutenderezanga.#Mat 28:10, Yok 17:6; 20:17, Beb 2:12
23Mmwe abatya Mukama,
mumutenderezenga.
Mmwe mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga.
Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri.
24Kubanga teyanyooma, oba obutamufaako oyo ali mu buyinike,
Wadde okumukuba amabega.
Naye bwe yamukoowoola, n'awulira.#Zab 10:1; 13:1, Beb 5:7
25Ggwe ompeesa ettendo nga ndi mu kibiina ekinene.
Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abakutya.#Zab 66:13, Yon 2:9
26Abaavu balirya ne bakkuta,
Abanoonya Mukama balimutendereza,
Babeerenga balamu emirembe gyonna.#Zab 69:32
27Amawanga gonna galijjukira ne gakyukira Mukama,
N'ebika byonna eby'amawanga birimusinza.#Zab 2:8; 67:7; 96:7
28Kubanga Mukama ye kabaka,
Ye yafuga amawanga.#Zab 47:8, Ob 21, Zek 14:9
29Bonna abeekulumbaza ab'ensi balimuvuunamira,
ne bamusinza.
N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira,
Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa.#Zab 45:12
30Abaana abazaalibwa balimuweereza,
Abantu balitegeeza ab'omulembe ogujja ebifa ku Mukama.#Zab 71:18; 78:6
31Balibuulira obulokozi bwa Mukama,
Abantu abalizaalibwa.

Currently Selected:

Zabbuli 22: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in