Zabbuli 14
14
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Obwononeefu bw'omuntu
1 #
Zab 53:1-6
Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.”
Boonoonese, bakoze ebikolwa eby'obugwagwa,
Tewali n'omu akola ekirungi.#Zab 10:4
2Mukama asinziira mu ggulu n'atunuulira abantu.
Alabe oba nga waliwo abaategeera,
Oba nga waliwo abaanoonya Katonda.#2 Byom 19:3, Zab 102:19
3Naye bonna bakyamye, bonna be bamu: boonoonyi.
Tewali n'omu akola kirungi, wadde omu bw'ati.#Bar 3:10-12
4Tebalina kumanya, bonna abakola ebibi,
abalya abantu bange ng'abalya emmere,
Era abatakoowoola Mukama?#Zab 79:6, Is 1:3, Yer 4:22; 10:25, Kos 7:7, Mi 3:3
5Baliba mu kutya okungi,
Kubanga Katonda ali wamu n'abatuukirivu.
6Ababi balemesa omwavu okutuukiriza enteekateeka ze,
Naye Mukama kye kiddukiro kye.#Zab 46:1; 61:3; 91:2; 142:5
7Singa obulokozi bwa Isiraeri
buvudde mu Sayuuni!
Mukama bw'alizzaawo emirembe mu bantu be,
Yakobo alisanyuka, Isiraeri alijaguza.#Zab 85:1; 126:1, Kos 6:11, Yo 3:1
Currently Selected:
Zabbuli 14: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.