Zabbuli 147
147
Okutendereza Katonda olw'obutonzi n'okununula Isiraeri
1Mutendereze Mukama;
Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe;
Kubanga ajjudde ekisa, n'oluyimba olumutendereza lumusaanira.#Zab 92:1
2Mukama azimbira ddala Yerusaalemi;
Akuŋŋaanya wamu abawaŋŋangusibwa aba Isiraeri.#Ma 30:3, Zab 102:16, Is 11:12; 56:8
3Awonya abalina emitima egimenyese,
Era asiba ebiwundu byabwe.#Zab 34:18, Is 61:1
4Abala emmunyeenye omuwendo gwazo;
Azituuma zonna amannya gaazo.#Lub 15:5, Is 40:26
5Mukama waffe mukulu,
era obuyinza bwe bwa maanyi;
Okutegeera kwe tekulowoozekeka.#Is 40:28, Nak 1:3
6Mukama awanirira abawombeefu;
Asuula wansi ababi.#Zab 146:8,9, Yer 17:5
7Muyimbire Mukama n'okwebaza;
Muyimbe n'ennanga okutendereza Katonda waffe;#1 Byom 15:16, Zab 95:1,2, Bef 5:19
8Abikka ku ggulu n'ebire,
Ateekerateekera ensi enkuba,
Amereza omuddo ku nsozi.#Yob 5:10, Zab 104:14
9Awa ensolo emmere yaazo,
Ne bannamuŋŋoona abato abakaaba.#Yob 38:41, Zab 104:27,28, Mat 6:26
10essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi;
wadde mu magulu g'omuntu.#Zab 33:17
11Mukama asanyukira abo abamutya,
Abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.#Zab 33:17
12Tendereza Mukama, ggwe Yerusaalemi;
Tendereza Katonda wo, ggwe Sayuuni.
13Kubanga anyweza ebisiba by'enzigi zo;
Awadde omukisa abaana bo munda yo.
14Aleeta emirembe mu nsalo zo;
Akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.#Kuv 34:24, Zab 81:16, Is 60:17,18
15Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
Ekigambo kye kidduka embiro nnyingi.
16Agabula omuzira ng'ebyoya by'endiga;
Omusulo ogukutte agusaasaanya ng'evvu.#Yob 37:6; 38:29
17Omuzira agukanyuga ng'obuyinjayinja;
Ani ayinza okuyimirira awali empewo ze?#Yob 37:9,10
18Atuma ekigambo kye, n'abisaanuusa;
Akunsa empewo ze,
amazzi ne gakulukuta.
19Alaga Yakobo ekigambo kye,
Amateeka ge n'emisango gye eri Isiraeri.#Ma 33:4, Mal 4:4, Bar 3:2
20Takolanga bw'atyo ggwanga lyonna;
N'emisango gye tebagimanyanga.
Mutendereze Mukama.#Ma 4:32-34
Currently Selected:
Zabbuli 147: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.