YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 146

146
Okwesiga Mukama
1Mutendereze Mukama.
Tendereza Mukama, ggwe emmeeme yange.
2Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange;
Nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.#Zab 63:4; 104:33
3Temwesiganga balangira
Newakubadde omwana w'omuntu,
omutali buyambi bwonna.#Zab 60:11; 118:8,9, Yer 17:5
4Omukka gwe gumuvaamu,
n'adda mu ttaka lye;
Ku lunaku olwo enteekateekaze zonna zifa.#Yob 34:14,15, Zab 104:29
5Alina omukisa oyo alina Katonda wa Yakobo okuba omubeezi we,
Ng'essuubi lye liri mu Mukama Katonda we;#Yer 17:7
6Eyakola eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebibirimu byonna;
Omwesigwa emirembe gyonna,#Zab 115:15; 117:2, Kub 14:7
7Asalira omusango abajoogebwa mu mazima;
Awa emmere abalumwa enjala;
Mukama asumulula abasibe;#Zab 103:6; 107:9, Is 61:1
8Mukama azibula amaaso g'abazibe;
Mukama awanirira abazitoowereddwa;
Mukama ayagala abatuukirivu;#Zab 11:7; 145:14, Mat 9:30, Yok 9:7
9Mukama akuuma bannamawanga;
Awanirira atalina kitaawe ne nnamwandu;
Naye ekkubo ery'ababi alivuunikirira ddala.#Kuv 22:21,22, Ma 10:18, Zab 147:6
10Mukama anaafuganga ennaku zonna,
Katonda wo, ggwe Sayuuni,
okutuusa emirembe gyonna.
Mutendereze Mukama.#Zab 10:16

Currently Selected:

Zabbuli 146: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in