1
Zabbuli 14:1
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Boonoonese, bakoze ebikolwa eby'obugwagwa, Tewali n'omu akola ekirungi.
Compare
Explore Zabbuli 14:1
2
Zabbuli 14:2
Mukama asinziira mu ggulu n'atunuulira abantu. Alabe oba nga waliwo abaategeera, Oba nga waliwo abaanoonya Katonda.
Explore Zabbuli 14:2
3
Zabbuli 14:3
Naye bonna bakyamye, bonna be bamu: boonoonyi. Tewali n'omu akola kirungi, wadde omu bw'ati.
Explore Zabbuli 14:3