Zabbuli 137
137
Okusaba olw'ennaku y'obusibe
1Okumpi n'emigga egy'e Babbulooni,
Twatuulawo wansi, ne tukaaba amaziga,
Bwe twajjukira Sayuuni.#Ez 1:1, Dan 8:2
2Ku miti egyali awo
Ne tuwanikako ennanga zaffe.
3Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagira okuyimba,
N'abaatunyaga baatulagira okuseka,
Nti, “Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni.”
4Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
Mu nsi eteri yaffe?
5Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
Omukono gwange ogwa ddyo gukalambale!
6Olulimi lwange lukwatire ku kibuno kyange,
Bwe ssiikujjukirenga;
Bwe ssaagalenga Yerusaalemi
Okusinga essanyu lyange lyonna.#Yob 29:10, Ez 3:26
7Jjukira, Ayi Mukama, abaana ba Edomu
Ku lunaku Yerusaalemi bwe kyasuulibwa;
Abaayogera nti, “ Kisuule, kisuule,
n'emisingi gyakyo!”#Kung 4:21,22, Ez 35:2,15, Am 1:11,12, Ob 8-14
8Ggwe omuwala ow'e Babbulooni,
agenda okuzikirizibwa;
Aliba n'omukisa oyo alikuwalana ggwe,
Nga bwe watukola ffe.
9Aliba n'omukisa oyo alikwata abaana bo abato, alibakasuka
Ku jjinja.
Currently Selected:
Zabbuli 137: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.