YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 116

116
Okwagala n'okuweereza Katonda
1Mmwagala Mukama, kubanga awulidde
Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange.#Zab 18:1; 66:19
2Kubanga antegedde okutu,
Kyenaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu.
3Emigwa egy'okufa gyansiba.
N'okulumwa kw'emagombe kwankwata;
Ne ndaba ennaku n'okutegana.#Zab 18:4,5
4Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama;
Nti, “Ayi Mukama, nkwegayiridde,
omponye emmeeme yange.”#Zab 18:6; 118:5
5Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
Katonda waffe alina okusaasira.#Ezer 9:15, Nek 9:8, Zab 11:7; 86:15, Yer 12:1, Kub 16:5
6Mukama akuuma abo abatalina nkwe;
Nnajeezebwa, n'andokola.#Zab 142:6
7Komawo mu kiwummulo kyo,
ggwe emmeeme yange;
Kubanga Mukama akukoledde eby'ekisa ekingi.#Zab 13:6, Yer 6:16, Mat 11:29
8Kubanga owonyezza emmeeme okufa,
Amaaso gange obutakaaba maziga,
N'ebigere byange okwesittala.#Zab 56:13
9Nnaatambuliranga mu maaso ga Mukama
Mu nsi y'abalamu.
10Nnakuuma okukkiriza, ne bwe n'agamba,
Nti, “ Mbonyeebonye nnyo.”#2 Kol 4:13
11Ne njogera mu kusoberwa,
Nti, “Abantu bonna balimba.#Zab 31:22; 62:9, Yer 9:5
12Kiki kye ndisasula Mukama
Olw'ebirungi bye byonna eri nze?
13Nditoola ekikompe eky'obulokozi,
Ne nkoowoola erinnya lya Mukama.#Zab 16:5; 105:1
14Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g'abantu be bonna.#Zab 50:14, Yon 2:9
15Okufa kw'abatukuvu be
Kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama.#Zab 86:16; 119:125
16Ayi Mukama, ndi muddu wo;
Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo;
Osumuludde ebyansiba.
17Ndikuwa ssaddaaka ey'okwebaza,
Ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g'abantu be bonna;
19Mu mpya z'ennyumba ya Mukama,
Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.”

Currently Selected:

Zabbuli 116: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in