Zabbuli 115
115
Katonda ow'ekitiibwa
1Si ffe, Ayi Mukama, si ffe,
Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwa ekitiibwa
Olw'okusaasira kwo, n'olw'amazima go.#Is 48:11, Ez 36:22
2Lwaki amawanga googera,
Nti, “ Katonda waabwe ali ludda wa?”#Zab 42:3,10; 79:10, Yo 2:17
3Naye Katonda waffe ali mu ggulu;
Akoze bye yayagala byonna.#Zab 135:6, Dan 4:35
4 #
Zab 135:15-18
Ebifaananyi byabwe bya ffeeza, na zaabu,
Ebikolebwa emikono gy'abantu.#Ma 4:28, Is 37:19, Yer 10:3-5
5Birina obumwa, naye tebyogera;
Birina amaaso, naye tebiraba;#Kaab 2:18, Kub 9:20
6Birina amatu, naye tebiwulira;
Birina ennyindo, naye tebiwunyiriza;
7Birina engalo, naye tebizikwasa kintu;
Birina ebigere, naye tebitambula;
So ne mu bulago bwabyo temuva ddoboozi.#Is 46:7
8Ababikola balibifaanana;
Ababyesiga balibifaanana.#Is 44:9, Yon 2:8
9Ggwe Isiraeri, mwesigenga Mukama,
Ye mubeezi wammwe,
ye ngabo yammwe.#Zab 33:20; 62:8; 118:2-4; 135:19,20
10Ggwe ennyumba ya Alooni,
mwesigenga Mukama;
Ye mubeezi wammwe, ye ngabo yammwe.
11Mmwe abatya Mukama,
mwesigenga Mukama,
Ye mubeezi wammwe, ye ngabo yammwe.
12Mukama atujjukidde; alituwa omukisa;
Aliwa omukisa ennyumba ya Isiraeri;
Aliwa omukisa ennyumba ya Alooni.
13Aliwa omukisa abo abatya Mukama,
Abato era n'abakulu.#Zab 112:1, Kub 19:5
14Mukama ayongerenga bulijjo okubaaza.
Mmwe n'abaana bammwe.#Ma 1:11
15Mmwe muweereddwa Mukama omukisa,
Eyakola eggulu n'ensi.#Zab 134:3
16Eggulu lye ggulu lya Mukama;
Naye ensi yagiwa abaana b'abantu.
17Abafu tebatendereza Mukama,
Newakubadde abo bonna abakka mu kusirika;#Zab 6:5
18Naye ffe tuneebazanga Mukama
Okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Mutendereze Mukama.#Zab 113:2, Dan 2:20
Currently Selected:
Zabbuli 115: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.