Zabbuli 110
110
Zabbuli ya Dawudi.
Obuwanguzi bwa kabaka eyeesiga Mukama
1Mukama agamba mukama wange nti,
“Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.”#Mak 12:36, Bik 2:34,35, 1 Kol 15:25, Beb 1:13; 10:12,13
2Mukama alisindika omuggo ogw'amaanyi go okuva mu Sayuuni;
Ggwe fugira wakati mu balabe bo.#Zab 45:6, Dan 7:14
3Abantu bo balyewaayo bokka
Mu ggye lyo ng'ekiseera ky'olutalo,
ku lusozi olutukuvu,
Oguva mu lubuto lw'enkya.
ng'omusulo bwe gujja, abavubuka bwe balikukuŋŋaanirako.#Balam 5:2, Zab 96:9
4Mukama yalayira, so talyejjusa,
Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna
Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.#Lub 14:18, Kubal 23:19, Zek 6:13, Beb 5:6; 6:17,18,20; 7:17,21
5Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo
Alifumita bakabaka ku lunaku olw'obusungu bwe.#Zab 2:5,12, Bar 2:5, Kub 11:18
6Alisala emisango mu mawanga,
Alijjuza ebifo emirambo
Alifumita omutwe mu nsi ennyingi.#Zab 68:21, Is 2:4, Yo 3:12
7Alinywa ku nsulo eri mu kkubo;
Kyaliva ayimusa omutwe.
Currently Selected:
Zabbuli 110: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.