YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 109

109
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Okusaba Katonda okukulwanirira
1Tosirika, Ayi Katonda gwe ntendereza;#Zab 83:1, Yer 17:14
2Kubanga abantu ababi
banjogeddeko eby'obulimba.
Boogedde nange n'olulimi olulimba.
3Banfukumulidde ebigambo eby'obukyayi,
Ne bannumbagana awatali nsonga.
4Olw'okwagala kwange bafuuse balabe bange;
Naye nze nsaba.#Zab 38:20
5Era bansasudde obubi olw'obulungi,
N'okukyawa olw'okwagala kwange.#Zab 35:12
6Omusseeko omuntu omubi,
Omulabe ayimirirenga ku mukono gwe ogwa ddyo.
7Bw'asalirwa omusango,
afulume nga gumusinze;
Era okusaba kwe kufuuke ekibi.#Nge 28:9
8Ennaku ze zibe ntono;
Omulala alye obukulu bwe.#Yok 17:12, Bik 1:20
9Abaana be babe nga tebalina kitaabwe,
Ne mukazi we nnamwandu.#Kuv 22:24, Yer 18:21
10Abaana be babe mmomboze, basabirizenga;
Bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.#Lub 4:12, Zab 59:15
11Amubanja ajje awambe byonna by'alina;
B'atamanyi banyageenyage emirimu gye.
12Anaamwongerako ekisa amubule;
wadde akolera eby'ekisa abaana be baalese naye abule.#Yob 5:4
13Ezzadde lye lizikirizibwe;
Mu mirembe egirijja amannya gaabwe gasaangulibwe.#Zab 9:5; 21:10
14Obutali butuukirivu bwa bajjajjaabe bujjukirwe eri Mukama;
So ekibi kya nnyina kireme okusangulibwa.#Kuv 20:5, Nek 4:5
15Bibeerenga mu maaso ga Mukama ennaku zonna,
Azikirize okujjukirwa kwabwe ku nsi.#Yob 18:17 Zab 34:16; 90:8
16Kubanga teyajjukira kusaasira,
Naye n'ayigganya omuntu omwavu eyeetaaga,
N'abo abalina omutima ogunakuwadde n'abatuusa ne ku kufa.
17Yayagalanga nnyo okukolima, leka ebikolimo bimuddire,
Teyayagalanga mikisa, kale gimwesambire ddala!#Ez 35:6
18Yayambala okukolima ng'ekyambalo kye,
Kakimuyingire mu nda ye ng'amazzi,
N'emumagumba ge ng'amafuta.
19Kubenga gy'ali ng'ekyambalo ky'ayambala,
Era kubenga ng'olukoba lwe yeesiba ennaku zonna.
20Eyo ye mpeera ey'abalabe bange eva eri Mukama,
N'abo aboogera obubi ku mmeeme yange.
21Naye olongoose ebyange, Ayi Katonda Mukama, olw'erinnya lyo,
Kubanga okusaasira kwo kulungi, omponye,#Zab 69:16
22Kubanga nze ndi mwavu, nneetaaga,
N'omutima gwange gufumitiddwa munda yange.
23Ŋŋenda ddala ng'ekisiikirize bwe kiggwaawo;
Nkuŋŋunta ng'enzige.#Zab 102:11
24Amaviivi gange ganafuwadde olw'okusiiba;
N'omubiri gwange gukozze.#Yob 16:8, Zab 35:13
25Era nfuuse ekivume gyebali;
Bwe bandaba, banyeenya omutwe gwabwe.#Zab 22:6,7
26Onnyambe, Ayi Mukama Katonda wange;
Nkwegayiridde ondokole ng'okusaasira kwo bwe kuli.
27Balyoke bategeere ng'ogwo gwe mukono gwo,
Nga ggwe, Mukama, wakikola.#Yob 37:7
28Bo bakolime, naye ggwe ompe omukisa,
Bwe baligolokoka, balikwatibwa ensonyi,
naye omuddu wo alisanyuka.#2 Sam 16:12, Is 65:14
29Abalabe bange bambale okuswazibwa,
Era beebikke ensonyi zaabwe ng'ekikunta.#Yob 8:22, Zab 35:26; 71:13
30Neebazanga nnyo Mukama n'akamwa kange;
Weewaawo, Nnamutenderezanga mu kibiina.
31Kubanga anaayimiriranga ku mukono ogwa ddyo ogw'omwavu,
Okumulokola eri abo abasalira omusango emmeeme ye.#Zab 16:8

Currently Selected:

Zabbuli 109: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in