Zabbuli 105
105
Okwebaza Katonda olw'endagaano ne Isiraeri
1 #
1 Byom 16:8-22
Mumwebazenga Mukama,
Mukoowoole erinnya lye;
Mumanyisenga ebikolwa bye mu mawanga.#Is 12:4
2Mumuyimbirenga, muyimbenga okumutendereza;
Mwogerenga ku by'amagero bye byonna.
3Mwenyumirizenga olw'erinnya lye ettukuvu: Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyukenga.
4Munoonyenga Mukama n'amaanyi ge;
Munoonyenga amaaso ge ennaku zonna.#Zab 27:8
5Mujjukirenga eby'amagero bye bye yakola;
Eby'ekitalo bye, n'emisango gye yasala;#Kuv 6:6, Zab 77:11
6Mmwe ezzadde lya Ibulayimu omuddu we,
Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.#Zab 105:42
7Oyo ye Mukama Katonda waffe:
Emisango gye gibuna ensi zonna.#Is 26:9
8Ajjukira endagaano ye ennaku zonna.
Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi (1,000);#Ma 7:9, Zab 111:5,9, Luk 1:72
9Endagaano gye yalagaana ne Ibulayimu,
N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka;#Lub 17:2; 22:16-18; 26:3, Luk 1:73
10N'ekyo nnaakinyweza eri Yakobo okuba etteeka,
Eri Isiraeri, okuba endagaano eteriggwaawo:#Lub 28:13,14; 35:10-12
11Ng'ayogera nti, “Mmwe ndibawa ensi ya Kanani,
ebeere omugabo ogw'obusika bwammwe,”#Lub 13:15; 15:18
12Bwe baali abantu abatono omuwendo gwabwe:
Weewaawo, abatono ennyo,
era nga batambuze mu nsi omwo;#Lub 34:30, Beb 11:9
13Ne batambulatambula mu mawanga agatali gamu,
Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala.
14Teyaganya muntu kuboonoona;
Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe;#Lub 12:17; 35:5
15Ng'ayogera nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,
So temukolanga bubi bannabbi bange!”#Lub 20:6,7
16N'ayita enjala okugwa ku nsi;
N'amenya omuggo gwabwe gwonna,
ye mmere yaabwe.#Lub 41:54, Ez 4:16
17Yabakulembeza omuntu;
Yusufu yatundibwa okuba omuddu:#Lub 37:28,36; 45:5, Bik 7:9
18Ebigere bye baabirumya enjegere;
Yagalamira ng'asibiddwa n'ebyuma:#Lub 39:20
19Okutuusa ekigambo kye lwe kyatuukirira;
Ekigambo kya Mukama kyamukemanga.#Lub 40:20-22
20Kabaka yatuma n'amusumulula;
Ye yafuga amawanga, n'amuteera ddala.#Lub 41:14
21N'amufuula omukulu w'ennyumba ye,
N'amuteresa ebintu bye byonna:#Lub 41:40
22Okutendeka abalangira be nga bw'ayagala,
N'okuyigiriza abakungu be amagezi.
23Era ne Isiraeri n'ajja mu Misiri;
Yakobo n'atuula mu nsi ya Kaamu.#Lub 46:6; 47:11, Bik 7:15; 13:17
24N'ayongera nnyo abantu be,
N'abawa amaanyi okusinga abalabe baabwe.#Kuv 1:7, Bik 7:17
25N'akyusa omutima gwabwe okukyawa abantu be,
Okukuusakuusa abaddu be.#Kuv 1:8-14, Bik 7:19
26N'atuma Musa omuddu we,
Ne Alooni gwe yalonda.#Kuv 3:10; 4:12, Kub 17:5-8
27Ne bakola obubonero bwe, mu Misiri;
N'eby'amagero mu nsi ya Kaamu.#Zab 78:43-51
28N'aleeta ekizikiza,
ekizikiza ne kikwata;
Naye ne bajeemera ebigambo bye.#Zab 99:7
29N'afuula amazzi gaabwe omusaayi,
N'atta ebyennyanja byabwe.#Kuv 7:17-21
30Ensi yaabwe n'ejjula ebikere,
ne biyingira ne mu bisenge bya bakabaka baabwe.#Kuv 8:2-6
31N'ayogera, ebitole eby'ensowera ne bijja,
N'ensekere ne zibuna mu nsalo zaabwe zonna.#Kuv 8:16,17,21-24
32N'abawa omuzira mu kifo ky'enkuba,
N'okumyansa ne kubuna mu nsi yaabwe.#Kuv 9:22-25
33Era n'akuba n'emizabbibu n'emitiini gyabwe;
N'amenya emiti egy'omu nsalo zaabwe.
34N'ayogera, enzige ne zijja,
Ne bulusejjera ne buba bungi, omuwendo gwabwo tegwabalika,#Kuv 10:12-15
35Ne bulya buli muddo ogwali mu
nsi yaabwe,
Ne bulya ebibala eby'ettaka lyabwe.
36Era n'atta n'ababereberye bonna abaali mu nsi yaabwe,
Abaali basinga amaanyi mu bazira baabwe bonna.#Kuv 12:29, Zab 78:51
37N'abaggyamu Abaisiraeri nga balina effeeza n'ezaabu:
So tewaali muntu munafu n'omu mu bika byabwe.#Kuv 12:35,36
38Misiri n'esanyuka bwe baagenda;
Kubanga entiisa yaabwe yali ebaguddeko.#Kuv 12:33; 15:16
39N'ayanjuluza ekire okubabikkangako;
N'omuliro gubaakirenga ekiro.#Kuv 13:21, Is 4:5, 1 Kol 10:1
40Ne basaba, n'aleeta obugubi,
N'abakkusa emmere ey'omu ggulu.#Kuv 16:12-15, Zab 78:24,27, Yok 6:31
41N'ayasa ejjinja, amazzi ne gatiiriika;
Ne gakulukuta mu bifo ebikalu ng'omugga.#Kuv 17:6, Kubal 20:11, Is 48:21, 1 Kol 10:4
42Kubanga yajjukira ekigambo kye ekitukuvu,
Ne Ibulayimu omuddu we.#Lub 15:14, Kuv 2:24, Zab 105:6-9
43N'aggyamu abantu be n'essanyu,
N'abalonde be n'okuyimba.#Kuv 15:1
44N'abawa ensi ez'amawanga;
Ne batwala ne balya emirimu egy'amawanga:#Yos 11:23; 24:13, Zab 78:55
45Balyoke bakwatenga ebiragiro bye,
Beekuumenga amateeka ge.
Mumutendereze Mukama.#Zab 104:35
Currently Selected:
Zabbuli 105: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.