1
Zabbuli 1:1-2
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi, Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi, Newakubadde okutuula mu ntebe z'abanyooma. Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa, Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro.
Compare
Explore Zabbuli 1:1-2
2
Zabbuli 1:3
Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi, Ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaagwo. Amalagala gaagwo tegawotoka, Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa.
Explore Zabbuli 1:3
3
Zabbuli 1:6
Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu, Naye ekkubo ly'ababi liribula.
Explore Zabbuli 1:6