YouVersion Logo
Search Icon

Engero 9

9
1Amagezi gazimbye ennyumba yaago,
Gasimbye empagi zaago musanvu:#Mat 16:18, Bef 2:20-22
2Gasse ensolo zaago;
gatabudde omwenge gwago;
Era gategese ekijjulo.#Zab 23:5, Mat 22:4, Luk 14:17
3Gasindise abawala baago,
boogerera waggulu
Mu bifo eby'omu kibuga ebisinga obugulumivu,#Nge 8:1,2, Mat 22:3
4Nti, “Buli atalina magezi ayingire muno.”
Nooyo atalina kutegeera gamugamba nti,#Nge 6:32
5“Jjangu olye ku mmere yange,
Era onywe ku mwenge gwe ntabudde.#Lu 8:2, Is 55:1, Yok 6:27
6Lekanga abo abatalina magezi,
obeerenga omulamu.”
Era tambuliranga mu kkubo ery'okutegeera.
7Anenya omukudaazi yeeswaza:
N'oyo abuulirira omubi yeerumya yekka.#Zab 141:5, Mat 7:6
8Tobuuliriranga mukudaazi aleme okukukyawa:
Buuliriranga ow'amagezi, anaakwagalanga.
9Yigirizanga ow'amagezi,
aneeyongeranga okuba n'amagezi:
Yigirizanga omutuukirivu,
aneeyongeranga okuyiga.#Mat 13:12
10Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera:
N'okumanya oyo Omutukuvu kwe kutegeera.#Nge 1:7
11Kubanga ku bwange ennaku zo ziryongerwako,
N'emyaka egy'obulamu bwo girisukkirizibwa.#Nge 3:2
12Bw'oba n'amagezi, amagezi go ga kuyamba, Naye bw'onyooma amagezi weerumya wekka.#Yob 22:2; 35:7
13Omukazi omusirisiru aleekaana;
Talina magezi, so taliiko ky'amanyi.#Nge 7:7-27
14Era atuula ku mulyango gw'ennyumba ye,
Ku ntebe mu bifo eby'omu kibuga ebigulumivu,
15Okuyita abo abayitawo,
Abali ku ngendo zaabwe,
16Nti, “Buli atalina magezi ajje wano.”
N'oyo atalina kutegeera amugamba nti,#Nge 9:4
17“Amazzi amabbe ge gawooma,
N'emmere eriirwa mu nkukutu, ye esanyusa.”#Nge 20:17
18Naye tamanyi ng'abafu bali eyo,
Nga n'abagenyi be, bali magombe.#Nge 7:27

Currently Selected:

Engero 9: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in