Engero 6
6
1Mwana wange, oba nga weeyimirira muliraanwa wo,
N'omuteerawo akabega,#Yob 17:3
2Ebigambo eby'omu kamwa ko bikukwasizza,
Ebigambo eby'omu kamwa ko bikuteze.
3Kale nno, mwana wange, kola kino weerokole,
Kubanga ogudde mu mukono gwa muliraanwa wo;
Genda weetoowaze weetayirire muliraanwa wo.#Luk 11:8
4Toganyanga maaso go kwebaka,
Newakubadde ebikkowe byo okubongoota.#Zab 132:4
5Weerokole ng'empeewo bw'eva mu mukono gw'omuyizzi,
Era ng'ennyonyi bw'eva mu mukono gw'omutezi.#Zab 91:3
6Genda eri enkolooto, ggwe omugayaavu;
Lowooza empisa zaayo obeerenga n'amagezi:#Nge 30:25#6:6 Enkolooto Kika ky'ekiwuka ekinene ennyo era nga kirya nnyo enkuyege.
7Eyo terina mwami,
Newakubadde omulabirizi, newakubadde omufuzi,#Nge 30:27
8Naye ne yeeterekera eby'okulya byayo mu biro eby'okukunguliramu,
N'ekuŋŋaanya emmere yaayo mu mwaka.#Nge 10:5
9Olituusa wa okwebakanga, ggwe omugayaavu?
Olizuukuka ddi mu tulo two?
10Ogamba nti, “ Ka ngira neebakamu katono.”
Olwo ng'ofunya emikono nga weebaka!
11Bwe butyo obwavu bulikujjira ng'omunyazi,
N'ebyetaago byo bikuzinde ng'omutemu azze n'ebissi.#Nge 24:33,34, Mub 4:5
12Omuntu ataliiko ky'agasa,
omusajja omubi,
Atambula ng'abungeesa eŋŋambo.
13Atemya amaaso, aseesa bigere bye,
Awenya n'engalo ze;#Zab 35:19
14Obubambaavu buli mu mutima gwe, asala obubi olutata;
Asiga okukyawagana.
15Ennaku z'aliraba kyeziriva zijja nga tamanyiridde;
Amangu ago alimenyeka, awatali kuwonyezebwa.#Nge 29:1, Yer 19:11
16Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by'akyawa;
Weewaawo, musanvu bya muzizo gy'ali:
17Entunula ey'amalala, olulimi olulimba,
Emikono egitta abataliiko musango;#Zab 101:5, Nge 12:22, Is 59:3,7
18Omutima oguyunja ebirowoozo ebibi,
Ebigere ebyanguwa okukola ebibi;#Lub 6:5, Nge 1:16
19Omujulizi awa obujulizi obw'obulimba,
N'oyo asiga okukyawagana mu b'oluganda.#Nge 12:17; 14:5; 16:28
20Mwana wange, okwatanga ekiragiro kya kitaawo,
So tolekanga nnyoko by'akuyigiriza.
21Bikuumenga ennaku zonna mu mutima gwo,
Obyesibenga mu bulago bwo.#Nge 3:3
22Bw'onootambulanga, binaakuluŋŋamyanga,
Bw'oneebakanga, binaakukuumanga:
Era bw'onoozuukukanga, binaayogeranga naawe.#Nge 3:23,24
23Kubanga etteeka ttaala, okuyigiriza, musana;
N'okunenya kw'oyo akuyigiriza lye kkubo ery'obulamu:#Zab 119:105
24Okukukuumanga eri omukazi omubi,
N'eri ebigambo ebisikiriza eby'omukazi omwenzi.
25Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,
Era n'ebisige by'amaaso ge biremenga okukusikiriza.#2 Bassek 9:30, Mat 5:28
26Omukazi malaaya,
yeetunda olw'emmere obumere:
Naye omukazi muk'omusajja, aleetera obulamu bwo okuzikirira.#1 Sam 2:36, Nge 29:3, Ez 13:18
27Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,
Ebyambalo bye ne bitaggya?#Yob 31:12
28Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,
Ebigere bye ne bitasiriira?
29Bw'atyo bw'abeera eyeegatta ne muka munne:
Buli akola ekyo, talirema kubonerezebwa.
30Abantu tebanyooma mubbi abbye,
Ng'alumwa enjala?
31Era bwe bamukwata aliwa emirundi musanvu.
Awaayo ebintu byonna ebyo mu nnyumba ye.#Kuv 22:1,4
32Ayenda ku muk'omusajja talina kutegeera:
Akola bwatyo azikiriza obulamu bwe yennyini.#Nge 7:7; 9:4; 10:13
33Alinyoomebwa era alifuna ebiwundu,
N'okuswala kwe tekulikoma.
34Kubanga obuggya butaamuusa omusajja nnyini mukazi,
So talisaasira ku lunaku olw'okuwoolera eggwanga.#Nge 27:4, Lu 8:6
35Talikkiriza kiweebwayo kyonna okwenunula.
So talinyiigulukuka newakubadde ng'owa ebirabo ebingi.
Currently Selected:
Engero 6: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.