Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by'akyawa;
Weewaawo, musanvu bya muzizo gy'ali:
Entunula ey'amalala, olulimi olulimba,
Emikono egitta abataliiko musango;
Omutima oguyunja ebirowoozo ebibi,
Ebigere ebyanguwa okukola ebibi;
Omujulizi awa obujulizi obw'obulimba,
N'oyo asiga okukyawagana mu b'oluganda.