Engero 28
28
1Ababi badduka nga tewali muntu abagoba;
Naye abatuukirivu baguma emyoyo ng'empologoma.#Leev 26:17, 1 Sam 17:37
2Ensi etegwamu butabanguko ebaamu abafuzi bangi;
Naye bwe beeramu abantu abalina okutegeera n'okumanya etebenkera.#1 Bassek 16:8-23
3Omuntu anyigiriza abaavu,
Alinga enkuba esaanyaawo mmere yonna.#Mat 18:28
4Abo abatakwata mateeka bawagira ababi:
Naye abo abagakwata babalwanyisa.#1 Bassek 18:18,21, Nek 13:11,15, Mat 3:7, Bar 1:32
5Abantu ababi tebategeera musango:
Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna.#Zab 92:6; 119:100, Yak 1:7, 1 Kol 2:15
6Omwavu atatambulira mu bukuusa,
Akira obulungi ow'amakubo amakyamu, newakubadde nga mugagga.#Nge 19:1
7Omwana akwata amateeka wa magezi;
Naye aba mukwano gw'abantu abaluvu aswaza kitaawe.#Nge 23:20
8Eyeegaggawaza ng'aseera afune amagoba,
Akuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu.#Leev 25:36, Nge 14:32
9Agaana okuwulira amateeka,
N'okusaba kwe kwa muzizo.#Zab 109:7, Nge 15:8
10Buli akyamya abagolokofu mu kkubo ebbi
Aligwa ye yennyini mu bunnya bwe ye:
Naye abo abaatuukirira balisikira ebirungi.#Zab 7:15
11Omugagga alowooza nti wa magezi;
Naye omwavu alina okutegeera amukebera.
12Abatuukirivu bwe bawangula,
wabaawo ekitiibwa ekinene:
Naye ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka.#Nge 11:10; 28:28
13Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa:
Naye buli akwatula n'akuleka alifuna okusaasirwa.#Yob 31:33, Zab 32:5, 1 Yok 1:8,9
14Alina omukisa omuntu atya Mukama mu biro byonna.
Naye oyo akakanyaza omutima gwe aligwa mu kabi.
15Ng'empologoma ewuluguma n'eddubu eryetala okutaagula;
Bw'abeera bw'atyo omufuzi omubi afuga abantu abaavu.#Kuv 1:13,14, Mat 2:16
16Omufuzi atalina kutegeera aba mukambwe nnyo;
Naye oyo akyawa obulyake, anaalwanga ku bufuzi.
17Omuntu omutemu
Asaana kubungeeta okutuusa lwalifa;
era walemenga kubaawo muntu amuyamba.
18Buli atambulira mu bugolokofu aliwonyezebwa;
Naye ow'amakubo amakyamu aligwa mangu ago.#Nge 10:9
19Omulimi omunyiikivu, aliba n'emmere nnyingi;
Naye ayita n'abagayaavu, anaabeeranga mwavu.#Nge 12:11
20Omuntu omwesigwa alifuna emikisa;
Naye abuguutanira okugaggawala talirema kubonerezebwa.#1 Tim 6:9
21Okusosola mu bantu si kulungi:
Naye abantu bakola ebibi olw'okufuna ke banaalya.#Nge 18:5, Ez 13:19
22Alina eriiso ebbi abuguutanira okugaggawala,
Sso n'atamanya nti obwetaavu bulimutuukako.
23Agolola munne ensobi, oluvannyuma aliganja,
Okusinga oyo amuwaanawaana.#Nge 27:5,6; 29:5
24Buli anyaga kitaawe oba nnyina n'ayogera nti Si musango;
Afaanana n'omutemu.
25Ow'omwoyo ogw'omululu aleeta oluyombo:
Naye eyeesiga Mukama anaabanga n'omukisa.#Nge 15:18
26Eyeesiga omutima gwe ye musirisiru
Naye atambula n'amagezi y'aliwonyezebwa.#1 Kol 3:18
27Agabira omwavu teyeetaagenga:
Naye oyo abalaba n'atabafaako, alikolimirwa bangi.#Nge 11:24; 19:17
28Ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka:
Naye bwe bazikirira, abatuukirivu beeyongera.#Nge 28:12
Currently Selected:
Engero 28: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.