Engero 24
24
1Tokwatirwanga buggya abantu ababi,
So teweegombanga kubeera nabo.#Zab 37:1
2Kubanga balowooza bya bukambwe,
Era boogera bya ttima.#Zab 10:7
3Kyetaagisa amagezi okuzimba ennyumba;
N'okutegeera kwe kuginyweza:#Nge 14:1
4N'okumanya kwe kujjuza ebisenge
Obugagga bwonna obw'omuwendo omungi era obusanyusa.#Nge 23:23
5Omuntu ow'amagezi aba wa maanyi;
Weewaawo, omuntu alina okumanya abeera n'obuyinza.#Nge 21:22
6Kubanga okulwana olutalo, kwetaaga okuteesa okw'amagezi;
Era awaba abawi b'amagezi abangi, we wabeera emirembe.#Nge 20:18
7Amagezi magulumivu nnyo,
gasukiridde omusiru,
Tayinza kwogerera we basalira emisango.
8Ateekateeka okukola obubi,
Abantu balimuyita omuntu ow'ettima.
9Okulowooza kw'omusiru kuba kwonoona,
Era omunyoomi abantu bamwetamwa.#Bik 8:22, 2 Kol 10:5
10Bw'ozirikira ku lunaku lw'ofuniddeko ebizibu,
Amaanyi go gaba matono.#Beb 12:3
11Yamba abo abatwalibwa okuttibwa,
Obawonye, baleme okutirimbulwa.#Zab 82:4
12Bw'onooyogeranga nti, “Ekyo ssaakitegeerako.”
Oyo apima ekiri mu mutima takulaba?
Oyo akuuma emmeeme yo takumanyi?
Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli?#Yob 34:11, Nge 16:2, Mub 5:8, Yer 32:19
13Mwana wange, olyanga omubisi gw'enjuki, kubanga mulungi;
N'ebisenge byagwo nga bwe bikuwoomera.#Zab 19:10; 119:103
14Manya nti n'amagezi bwe gatyo bwe gawoomera obulamu bwo.
Bw'ogafuna, oliba bulungi gye bujja,
By'osuubira birituukirira.#Nge 23:18
15Toteegera ku nnyumba ya mutuukirivu, ggwe omuntu omubi;
Tonyaga kifo ky'awummuliramu:#Zab 10:9
16Kubanga omuntu omutuukirivu ne bw'agwa emirundi musanvu ayimukawo nate;
Naye ababi obuyinike bubasuula.#Yob 5:19, Zab 37:24, Nge 14:32
17Tosanyukanga omulabe wo bw'agwanga,
So n'omutima gwo gulemenga okusanyuka bw'ameggebwanga:#Nge 17:5
18Mukama alemenga okukiraba ne kimunyiiza,
N'alekera okumusunguwalira.
19Teweeraliikiriranga olw'abo abakola obubi;
Era tobakwatirwanga buggya.#Zab 37:1, Yer 12:1
20Kubanga tewaliba mpeera eri omuntu omubi;
Ettaala y'ababi erizikizibwa.#Yob 18:5, Nge 13:9
21Mwana wange, otyanga Mukama ne kabaka:
Era teweetabanga n'abo abaagala okujeema.#1 Peet 2:17
22Kubanga obuyinike bulibajjira nga tebamanyiridde;
Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi bwe kulyenkana?
Enjogera endala ez'amagezi (24:23-34)
23Era na bino byayogerwa abo ab'amagezi.
Okusosola mu bantu ng'osala emisango si kirungi.#2 Byom 19:7, Nge 18:5
24Agamba omubi nti, “ Toliiko musango,”
Abantu banaamukolimiranga,
amawanga ganaamukyawanga.#Nge 17:15
25Naye abo abanenya asobeza banaafunanga essanyu,
Era banaabeeranga n'omukisa.
26Okuddamu obulungi,
Kabonero k'omukwano.
27Sooka oteeketeeke bulungi emirimu gyo egy'ebweru,
Otereeze bulungi ennimiro yo,
Oluvannyuma olyoke ozimbe ennyumba yo.
28Tolumirizanga munno awatali nsonga:
Era toyogeranga bya bulimba.#Nge 25:18
29Toyogeranga nti, “Ndimukola nga ye bw'ankoze,
Ndisasula omusajja oyo nga bw'ankoze”#Nge 20:22
30N'ayita ku nnimiro ey'omugayaavu,
Ne mu lusuku olw'emizabbibu lw'oyo atalina kutegeera;
31Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna,
Omuddo nga guduumuukidde omwo,
N'olukomera lwalwo olw'amayinja nga lugudde.#Is 5:5
32Awo ne ntunula ne ndowooza nnyo:
Ne mbaako kye njiga nti:
33Oba oyagala, weebakeko katono,
sumagira weebakeko,
Zinga emikono, owummuleko!#Nge 6:10,11
34Naye obwavu n'obwetaavu,
Birikulumba ng'omunyazi era ng'omusajja akutte eby'okulwanyisa.
Currently Selected:
Engero 24: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.