Engero 20
20
1Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi;
Era buli agwettanira talina magezi.#Lub 9:21, Nge 23:29-32, Is 28:7
2Kabaka bw'asunguwala, atiisa ng'empologoma ewuluguma.
Amusunguwaza akosa obulamu bwe yekka.#Nge 8:36; 19:12
3Kya kitiibwa okwewala ennyombo,
Naye omusiru yayagala okuyomba.#Lub 13:7-9, Nge 17:14
4Omugayaavu atayagala kulima mu nkuba ya ttoggo;
Kyanaavanga asabiriza okukungula nga kutuuse n'ataba na kintu.#Nge 19:15,24
5Omuntu by'alowooza, biri ng'amazzi agali mu luzzi oluwanvu;
Omutetenkanya, y'agasenayo.#Nge 18:4
6Abantu bangi abeeyita ab'ekisa;
Naye omuntu omwesigwa ani ayinza okumulaba?#Nge 25:14, Yer 5:1, Mat 6:2, Luk 18:8
7Omuntu omutuukirivu atambulira mu butayonoona bwe,
Abaana be abaddawo balina omukisa.#1 Bassek 15:4, Zab 112:2
8Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango
Apima n'azuula ekirungi n'ekibi.#Nge 16:10
9Ani ayinza okwogera nti, “Nnongoosezza omutima gwange,
Ndi mulongoofu, sirina kibi kyonna?”#Yob 15:14, Mub 7:20
10Ebipima ebitenkana n'ebigera ebitenkana
Byombi bya muzizo eri Mukama.#Nge 11:1
11Era n'omwana omuto yeemanyisa olw'ebikolwa bye,
Oba nga mulongoofu, oba nga mulungi.#Mat 7:16
12Okutu okuwulira, n'eriiso eriraba,
Byombi Mukama ye yabikola.#Kuv 4:11, Zab 94:9
13Toyagalanga kwebaka oleme okutuuka mu bwavu;
Vvanga mu tulo, ofunenga emmere gy'olya.#Nge 12:11; 19:15, Bar 12:11
14“Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa,” bw'ayogera agula:
Naye ng'amaze okugula n'alyoka yeewaana.
15Waliwo zaabu n'amayinja amatwakaavu mangi nnyo:
Naye emimwa egy'ogera eby'amagezi kya buyonjo eky'omuwendo omungi.#Yob 28:18
16Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi;
Era obowenga oyo eyeeyimirira b'atamanyi.#Nge 27:13
17Emmere ey'obulimba ewoomera omuntu;
Naye oluvannyuma akamwa ke kalijjula omusenyu.#Nge 9:17
18Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa:
Era lwananga olutalo ng'okulemberwa amagezi.#Nge 11:14; 24:6
19Abungeesa eŋŋambo, takuuma byama,
Kale tomwesemberezanga oyo ali bwatyo.#Nge 11:13; 13:3
20Akolimira kitaawe oba nnyina,
Aliba ng'ettaala ezikizibwa mu kizikiza ekikutte zigizigi.#Kuv 21:17, 2 Sam 21:17, Yob 18:5
21Bw'ofuna by'otosoose kuteganira,
Ku nkomerero tebiba na mukisa.#Nge 13:11
22Tewewereranga kuwoolera ggwanga,
Olekanga Mukama n'akulwanirira.#Zab 27:14, Nge 24:29, Bar 12:17,19, 1 Peet 3:9
23Ebipima ebitenkana bya muzizo eri Mukama;
Ne minzaani ey'obulimba si nnungi.#Nge 20:10
24Mukama yafuga okutambula kw'omuntu;
Kale nno omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye?#Nge 16:9
25Kuba kwesuula mu mutego, okwanguyiriza okusuubiza Mukama ekintu;
N'olyoka weerowooza ng'omaze okweyama.#Mub 5:2,5
26Kabaka ow'amagezi azuula abakola obubi,
N'ababonereza n'obukambwe.
27Omwoyo gw'omuntu ye ttaala ya Mukama,
Emulisa byonna eby'omunda.#Zef 1:12, 1 Kol 2:11
28Ekisa n'amazima biwanirira kabaka;
N'okusaasira kwe kunyweza entebe ye.#Nge 16:12
29Ekyenyumirizisa abavubuka, maanyi gaabwe;
N'omutwe ogw'envi, bwe bulungi bw'abakadde.#Nge 16:31
30Emiggo egiruma gigolola ow'empisa embi;
N'okuswanyulwa, kuggyamu emize.
Currently Selected:
Engero 20: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.