YouVersion Logo
Search Icon

Engero 21

21
1Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng'emigga:
Agukyusa n'aguza gy'ayagala yonna.#Ezer 6:22
2Buli kkubo ery'omuntu ddungi mu maaso ge ye:
Naye Mukama y'apima emitima.#1 Sam 16:7, Nge 16:2; 24:12, Luk 16:15
3Okukola ebituufu n'obwenkanya,
Kukkirizibwa Mukama okusinga okumuwa ssaddaaka.#1 Sam 15:22, Kos 6:6
4Amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala,
Ebyo byombi bibi.#Zab 101:5, Nge 6:17
5Entegeka z'omunyiikivu, zimuviiramu amagoba;
Naye oyo alulunkanira ebintu, yeereetako obwavu.#Nge 10:4; 19:2
6Obugagga obufunibwa mu bulimba,
Buyita nga mpewo,
ababunoonya banoonya okufa.
7Obukambwe bw'ababi bulibamalawo,
Kubanga bagaana okukola eby'amazima.
8Ekkubo ly'oyo azziza omusango si golokofu;
Naye omulongoofu yeeyisa bulungi.#Nge 2:15
9Waakiri okubeera mu kasonda ku nnyumba waggulu,
N'otoba na mukazi muyombi, mu nnyumba engazi.#Nge 15:24
10Emmeeme y'omubi yeegomba okukola ebibi,
Teyinza kusaasira muntu mulala yenna.
11Omunyoomi bw'abonerezebwa:
atalina magezi ayiga;
Era ow'amagezi bw'ayigirizibwa yeeyongera okumanya.#Nge 19:25
12Katonda omutuukirivu, amanyi ebiri mu nnyumba y'omubi;
Ababi balimeggebwa ne bazikirira.#Zab 37:35,36
13Aziba amatu ge omwavu ng'akaaba,
Naye bwalikaaba, taliwulirwa.#Mat 7:2; 18:20-34
14Ekirabo ekiweebwa mu kyama kikkakkanya obusungu,
N'okuyiiyiza omuntu ekirabo, kimumalako ekiruyi.
15Okukolanga eby'amazima kisanyusa omutuukirivu;
Naye kuzikirira eri abakola ebitali bya butuukirivu.#Nge 10:29
16Omuntu awaba okuva mu kkubo ery'okutegeera
Aliwummulira mu kkuŋŋaaniro ery'abafu.
17Ayagala amasanyu anaabanga mwavu:
Ayagala omwenge n'ebyasava, taligaggawala.
18Omubi aba kinunulo kya mutuukirivu;
N'oyo asala enkwe addamu kifo ky'abagolokofu.#Nge 15:9, Mat 5:6; 6:33
19Waakiri okubeera, mu nsi ey'eddungu,
Okusinga okubeera n'omukazi anyiiganyiiga era omuyombi.
20Mu nnyumba y'omuntu ow'amagezi, mubeeramu obugagga obw'omuwendo omungi;
Naye omusiru abumalawo byonna.#Yob 20:15,18, Zab 112:3
21Agoberera obutuukirivu n'ekisa,
alifuna obulamu n'ekitiibwa.#Nge 15:9, Mat 5:6; 6:33
22Omulwanyi ow'amagezi awangula ekibuga ky'ab'amaanyi,
N'amenya ebisenge byakyo bye beesiga.#2 Sam 5:6-9, Mub 7:19
23Buli eyeegendereza mu by'ayogera,
Yeewonya emitawaana.#Nge 13:3
24Omuntu ow'amalala eyeegulumiza, ayitibwa munyoomi,
Akolera emirimu mu ttitimbuli ery'amalala.
25Okwegomba okw'omugayaavu kwe ku mutta;
Kubanga tayagala kukola mirimu.#Nge 13:4
26Olunaku lwonna, omubi yeegomba okubaako ky'afuna;
Naye omutuukirivu takodowala, agaba.#Zab 37:26
27Ssaddaaka ey'ababi ya muzizo:
Naddala bwe bagireeta n'ekigendererwa ekitali kirungi,
tesinga nnyo okuba ey'omuzizo?#Nge 15:8, Is 66:3
28Omujulirwa ow'obulimba alizikirizibwa;
Naye omuntu awuliriza by'ayogera bikkirizibwa.#Nge 19:9
29Omuntu omubi yeekazakaza;
Naye omugolokofu yeegendereza amakubo.
30Tewali magezi na kutegeera,
Wadde okuteesa kw'omuntu, ebisinga Mukama.#Nge 19:21, Is 8:10
31Embalaasi etegekerwa olunaku olw'olutalo,
Naye okuwangula kuva eri Mukama.#Zab 20:7, Yer 3:23

Currently Selected:

Engero 21: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in