YouVersion Logo
Search Icon

Engero 18

18
1Eyeeyawula ku balala aba anoonya bibye yekka,
Era awakanya amagezi gonna amatuufu.
2Omusiru tafaayo kutegeera,
Naye kyafaayo kwe kwogera ebiri mu mutima gwe.#Nge 13:16
3Ebibi bireeta okunyoomebwa;
obuswavu, buleeta n'okuvumibwa.
4Ebigambo omuntu by'ayogera bya magezi nga amazzi amawanvu;
Ensulo ey'amagezi mugga ogukulukuta.#Nge 20:5
5Si kirungi okuginya omubi,
N'okusaliriza omutuukirivu.
6Omusiru bw'atandika oluyombo,
aba yeesabira kukubwa miggo.
7Omusiru by'ayogera, bye bimuzikiriza,
Ebigambo by'ayogera ze nkoba ezimusiba.#Nge 12:13
8Ebigambo by'ow'olugambo biringa emmere ewooma,
Biyingirira ddala mu bulamu bw'omuntu.#Nge 26:22
9Oyo akola emirimu n'obugayaavu,
Talina njawulo n'oyo agyonoona.
10Erinnya lya Mukama kigo ky'amaanyi:
Omutuukirivu addukira omwo n'aba mirembe.#Zab 61:3, Nge 29:25
11Omugagga obugagga bwe ge maanyi ge,
Era bulinga bbugwe omuwanvu okumutaasa.#Nge 10:15
12Okwekulumbaza, kwe kukulembera okuzikirira;
N'okwetoowaza, kwe kukulembera ekitiibwa.#Nge 11:2; 15:33
13Addamu nga tannawulira,
aba musiru, era aswala.
14Omwoyo gw'omuntu omumalirivu, gumuwanirira mu bulwadde.
Naye omwoyo oguterebuse, ani ayinza okugugumiikiriza?
15Omutima gw'omutegeevu gunoonya okumanya;
N'okutu kw'ab'amagezi kunoonya okumanya.
16Ekirabo omuntu kyaleeta, kimuseguliza,
N'ekimutuusa mu maaso g'abakulu.#Lub 32:20, 1 Sam 25:27
17Asooka okuwoza afaanana nga ye mutuufu,
okutuusa omulala lw'ajja n'amulumiriza.
18Akalulu kamalawo empaka,
Era kalamula ab'amaanyi.
19Kyangu okuwamba ekibuga eky'amaanyi, okusinga okutabagana n'ow'oluganda anyiize,
Era ennyombo eziri bwe zityo ziri ng'ebisiba eby'ekigo.
20Olubuto lw'omuntu lulikkuta ebibala eby'akamwa ke;
Ekyengera eky'omu mimwa gye kirimumala.#Nge 12:14
21Okufa n'obulamu biba mu buyinza bw'olulimi;
N'abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
22Alaba omukazi okumuwasa aba azudde ekirungi,
Era afuna okuganja eri Mukama.#Nge 19:14
23Omwavu yeegayirira:
Naye omugagga addamu na bboggo.#Yak 2:6
24Abantu abamu beefuula okuba ab'omukwano;
Naye waliwo ow'omukwano akunywererako n'okusinga ow'oluganda.#17:17

Currently Selected:

Engero 18: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in