Engero 17
17
1Akamere akaluma kolya ng'olina emirembe,
Kakira embaga gy'olira mu nnyumba omuli okuyomba.#Nge 15:17
2Omuddu akola eby'amagezi alifuga omwana akola ebitasaana.
Era aliba n'omugabo ogw'obusika ng'omu ku b'oluganda.
3Entamu erongoosa ffeeza,
n'emu kabiga mwe basanusiza zaabu;
Naye Mukama y'ageza emitima.#1 Byom 29:17, Zab 26:2, Nge 27:21, Yer 17:10
4Omukozi w'ebibi, assaayo omwoyo okuwuliriza emboozi embi;
N'omulimba anyumirwa okuwuliriza ebigambo eby'ettima.
5Akudaalira omwavu avvoola Omutonzi we:
N'oyo asanyukira obuyinike bwa banne, talirema kubonerezebwa.#Yob 31:29, Nge 14:31; 24:17, Ob 13
6Abakadde basanyukira abazzukulu baabwe,
N'abaana beenyumiririza mu bakitaabwe.
7Okwogera eby'amakulu tekukolebwa musiru;
N'omulangira tasaana kwogera by'abulimba.
8Enguzi ebanga ejjinja ery'omuwendo eri oyo agiwa;
N'emwesiguza nti enemukolera byonna byayagala.
9Asonyiwa ekisobyo, anoonya okwagala;
Naye ayeeyereza ekisobyo ayawukanya ab'omukwano ennyo.#Nge 10:12; 16:28
10Omuntu ategeera anenyezebwa lumu n'ayiga;
Okusinga omusiru akubwa emiggo ekikumi (100).
11Omuntu omubi buli kiseera ajeema;
Omubaka omukambwe kyaliva atumibwa okumukwata.#1 Bassek 2:29
12Waakiri omuntu asisinkane eddubu ennyagiddwako abaana baayo;
Okusinga okusisinkana omusiru ng'akola eby'obusiru bye.#2 Sam 17:8, Kos 13:8
13Asasula obubi olw'obulungi,
Obubi tebuliva ku nnyumba ye.#2 Sam 12:11, Zab 109:5
14Okutanula okuyomba kuli ng'omuntu bw'aggulira amazzi:
Kale olekanga okuwakana, waleme okubalukawo oluyombo.#Nge 20:3; 25:8
15Awa omubi obutuukirivu n'oyo asalira omutuukirivu okumusinga,
Bombi benkana okuba ab'omuzizo eri Mukama.#Kuv 23:7, Nge 18:5; 24:24, Is 5:23
16Lwaki omusiru awaayo sente ze okufuna amagezi,
Nga talina kutegeera?
17Ow'omukwano aba n'okwagala ekiseera kyonna;
Era ow'oluganda abaawo okuyamba mu buyinike.#Luus 1:16, Nge 18:24
18Omuntu omusiru awa obweyamo;
okutekerawo munne akabega.#Nge 6:1
19Ayagala okuyomba ayagala okusobya:
N'oyo eyeegulumiza anoonya okuzikirira.#Nge 29:23
20Alina omutima omubambaavu talifuna birungi;
N'oyo ayogera obubi, aligwa mu katyabaga.
21Azaala omusiru yeereetera obuyinike;
Era kitaawe w'omusiru talina ssanyu.#Nge 19:13
22Okusanyuka ddagala eriwonya;
Naye okunakuwala, kukozza omubiri.#Zab 22:15, Nge 15:13
23Omuntu omubi akkiriza okutwala enguzi;
Alyoke akyamye ensala y'omusango.#Kuv 23:8, Mi 3:11
24Omuntu omutegeevu ategeka okukola eby'amagezi;
Naye omusiru, amala gatandika kino na kiri.#Ma 30:11-14, Nge 14:6
25Omwana omusiru anakuwaza kitaawe,
Era aleetera nnyina obulumi.#Nge 10:1
26Era okubonereza omutuukirivu si kulungi,
Newakubadde okukuba abalungi ng'obalanga obugolokofu bwabwe,
27Omutegeevu yeefuga mu kwogera;
N'oyo alina omwoyo ogw'emmizi muntu mutegeevu.#Nge 10:19
28Omusiru bw'asirika bamuyita wa magezi;
Bw'abunira bamulowooza nga omutegeevu.
Currently Selected:
Engero 17: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.