YouVersion Logo
Search Icon

Engero 16

16
1Omuntu ateekateeka by'anaakola;
Naye Mukama y'asalawo eky'enkomerero.#Mat 10:19
2Amakubo gonna ag'omuntu gaba malongoofu mu maaso ge ye:
Naye Mukama apima emyoyo.#Nge 21:2; 24:12
3Emirimu gyo gikwasenga Mukama,
By'otegese lwe binaatuukirizibwanga.#Zab 37:5
4Mukama yakolera buli kintu omulimu gwakyo:
Weewaawo, era n'ababi yabakolera olunaku olw'okulabirako ennaku.#Yob 21:30, Bar 9:22
5Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama:
Taliwona nakatono kubonerezebwa.#Nge 11:21, Luk 16:15
6Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu:
Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi.#Nge 14:16, Dan 4:27
7Amakubo ag'omuntu bwe gasanyusa Mukama,
Amukyusiza abalabe, okuba mikwano gye.#Lub 26:28, 2 Byom 17:10, 1 Peet 3:13
8Okufuna akatono mu mazima,
Kisinga okufuna ebingi, mu bukumpanya.#Nge 15:16
9Omuntu y'ateekateeka by'anaakola;
Naye Mukama yabiruŋŋamya okutuukirira.#Nge 19:21; 20:24, Yer 10:23
10Kabaka aluŋŋamizibwa mu by'ayogera;
Natasobya bwaba nga alamula omusango.#1 Bassek 3:28
11Ebigera n'eminzaani ebituufu Mukama by'ayagala;
Ebipimibwa byonna bibeere mu mazima.#Nge 11:1
12Kibi bakabaka okukola ebibi;
Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza okufuga kwe.#Nge 29:14, Is 16:5
13Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira;
Era baagala oyo ayogera eby'amazima.#Nge 22:11
14Kabaka bw'asunguwala ayinza okutta;
Naye omuntu ow'amagezi amuwooyawooya mangu.#25:15
15Okusanyuka kwa kabaka mwe muli obulamu;
N'okuganza kwe kulinga enkuba ya ttoggo.
16Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu!
Weewaawo, okufuna okutegeera kulondebwa okukira ffeeza.#Nge 8:10,11,19
17Abantu abagolokofu beewala okukola obubi;
N'oyo eyeegendereza mu mpisa ze awonya emmeeme ye.#Nge 4:27
18Amalala gakulembera okuzikirira,
N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.#Nge 11:1
19Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu
Akira agabana omunyago wamu n'ab'amalala.
20Assaayo omwoyo eri ekigambo anaalabanga ebirungi:
Era buli eyeesiga Mukama alina omukisa.#Zab 2:12
21Omuntu ow'amagezi, gwe bayita omutegeevu;
Ow'ebigambo ebinyunyuntuvu, ayanguwa okusikiriza abantu.
22Eri omutegeevu, amagezi bwe bulamu;
Naye okubuulirira omusiru, kumala biseera.#Nge 10:11
23Ow'amagezi ayogera bizimba,
Ebisikiriza abantu.#Mat 12:34
24Ebigambo ebisanyusa biringa mubisi gwa njuki okuwooma;
Bizzaamu amaanyi,
era bireeta obulamu.#Zab 19:10
25Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi,
Naye ku nkomerero limutwala mu kufa.#Nge 14:12
26Obwetaavu buleetera omuntu okukola;
Alyoke afune ky'anaalya.#Mub 6:7
27Omuntu ataliiko ky'agasa agunja obubi;
Era by'ayogera bibalagala nga ayokeddwa omuliro.#Nge 6:12,14, Yak 3:6
28Omuntu omubambaavu aleeta ennyombo;
N'omulyolyomi akyayisa ab'omukwano ennyo.#Nge 17:9; 26:20
29Omuntu ow'effujo asendasenda munne,
N'amutwala mu kkubo eritali ddungi.
30Atta ku liiso, ateesa bya bulimba;
Aluma emimwa atuukiriza obubi.
31Envi ez'obukadde, ngule ya kitiibwa,
efunibwa oyo akola eby'obutuukirivu.#Nge 20:29
32Alwawo okusunguwala asinga omuzira nnamige;
Eyeefuga mu mutima, asinga awangula ekibuga.#Nge 14:29; 25:28
33Akalulu kasuulibwa okulaba ekivaamu;
Naye Mukama yasalawo ekivaamu.#Nge 29:26, Bik 1:26

Currently Selected:

Engero 16: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in