Engero 1
1
Okwanjula (1:1-7)
1Engero za Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri:#1 Bassek 4:32, Nge 10:1; 25:1, Mub 12:9
2Ziyamba abantu okufuna amagezi n'okuyigirizibwanga;
Okutegeera amakulu g'ebigambo ebikusike.
3Ziyigiriza amagezi ag'okukolanga eby'amagezi,
Eby'obutuukirivu, eby'amazima ne by'obwenkanya.#Nge 2:9
4Ziyigiriza abatalina magezi obukabakaba,
Ziwa abavubuka okumanya n'okutegeera.
5Ow'amagezi bw'aziwulira yeeyongerenga okuyiga,
Era omusajja ategeera ayige okukolanga ebituufu.
6Okutegeeranga engero n'ebigambo ebigumu.
Ebigambo eby'abagezigezi n'ebikokko byabwe.#Zab 78:2
7Mu kutya Mukama okumanya mwe kusookera:
Naye abasirusiru banyooma amagezi n'okuyigirizibwanga.#Yob 28:28, Zab 111:10, Nge 9:10; 15:33
Ebigambo bya taata eby'amagezi (1:8—9:18)
8Mwana wange, wuliranga okuyigiriza kwa kitaawo,
So tova mw'ebyo nnyoko bya kugamba.
9Kubanga binaakuyambanga okulungiya empisa zo,
Ng'eky'okumutwe n'emikuufu gy'omu bulago, bwe biwoomera ababyambala.#Lub 41:42, Dan 5:29
10Mwana wange, abalina ebibi bwe bakusendasendanga,
Tokkirizanga.
11Singa bagamba nti, “Jjangu tugende fenna,
Tuteege omuntu,
Tuzinde mu kyama ataliiko musango, tumulumbe awatali nsonga,
12Tubafuukire amagombe, tubamire nga bakyali balamu,
Basaanewo nga bakyali balamba ng'abo abakka mu bunnya;#Kubal 16:32,33
13Tuliraba ebintu byonna eby'omuwendo ennyo,
Tulijjuza ennyumba zaffe omunyago.
14Jjangu otwegatteko naawe,
Tunnagabaniranga wamu omunyago.”
15Mwana wange, tokirizanga kugenda nabo,
Era tobeesemberezanga,#Zab 1:1
16Kubanga bagenderera okukola obubi,
Era tebalwawo kuyiwa musaayi.#Is 59:7, Bar 3:15
17Otegera bwereere ekitimba,
Ennyonyi gy'otega nga ekulaba.
18Naye abantu ng'abo, bateega bulamu bwabwe bo,
Bafiira mu mitego gyabwe bo.
19Bwe batyo bwe babeera abafuna ebintu nga banyaga:
Baba besse bokka.
20Amagezi googerera waggulu mu luguudo;
Gakoowoolera mu bifo ebigazi;#Nge 8:1-3; 9:3
21Googerera waggulu mu kifo ekikulu eky'okukuŋŋaaniramu;
Awayingirirwa mu kibuga,
Wegoogerera ebigambo byago:
22“Mmwe abatalina magezi,
mulituusa wa okwagalanga obutaba na magezi?
N'abanyooma okusanyukiranga okunyooma,
N'abasirusiru okukyawanga okumanya?
23Mukyuke olw'okunenya kwange:
Nnaabamanyisa ekindi ku mwoyo,
Nnaabamanyisa ebigambo byange.#Yo 2:28
24Kubanga mbayise ne mugaana okuwulira,
Ngolodde omukono gwange, so
tewali muntu assizzaayo mwoyo;#Is 65:12, Yer 7:13, Zek 7:11, Bar 10:21
25Temufuddeyo ku kubuulirira kwange kwonna,
So temwagadde mbanenye n'akatono:#Zab 107:11, Luk 7:30
26Era nange ndisekera ku lunaku kwe mulirabira ennaku;
Ndikudaala entiisa yammwe bwerituuka.#Zab 2:4
27Entiisa bw'eribajjira ng'omuyaga,
Akabi ne kabeetooloola ng'embuyaga ey'akazimu,
Okweraliikirira n'obubalagaze bwe biribajjira.
28Kale bwe balimpanjagira,
nange siribaddamu.
Balinnoonya nnyo,
naye tebalindaba:#1 Sam 8:18, Mi 3:4
29Kubanga baakyawanga okumanya,
Era tebalondawo kutya Mukama.#Yob 21:14
30Tebaayagalanga kubuulirira kwange n'akatono,
Baanyoomanga okunenya kwange kwonna.#Zab 107:11
31Kyebaliva balya ku bibala eby'ekkubo lyabwe bo,
Ne bakkuta enkwe zaabwe bo.#Yer 6:19
32Kubanga okudda ennyuma okw'abatalina magezi kulibatta,
Obutafaayo bw'abasiru bulibazikiriza.#Yer 2:19
33Naye buli anaawuliranga bye ŋŋamba anaabeeranga mirembe,
Era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.”#Zab 25:13; 112:7
Currently Selected:
Engero 1: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.