YouVersion Logo
Search Icon

Engero Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kino ekiyitibwa Engero kikuŋŋaanya ebigambo eby'amagezi ebiyigiriza omuntu okutya Katonda n'okweyisa obulungi mu nsi. Ebigambo eby'omu kitabo kino ebisinga bya kabaka Sulemaani. Abalala aboogerwako ye Aguli ne kabaka Lemweri (30: 1; 31: 1). Ekikulu ennyo ekitegeezebwa mu kitabo kino nti mu kutya Mukama amagezi gonna mwe gasibuka.
Ebiri mu kitabo
I. Okwanjula (1:1-7).
II. Ebigambo bya taata eby'amagezi (1:8—9:18).
III. Engero za Sulemaani (10:1—22:16).
IV. Enjogera asatu (30) eza magezi (22:17—24:22).
V. Enjogera endala eza magezi (24:23-34).
VI. Keezeekiya bye yakuŋŋaanya ku ngero za Sulemaani (25:1—29:27).
VII. Ebigambo bya Aguli (30:1-33).
VIII. Ebigambo bya kabaka Lemweri (31:1-9).
IX. Omukyala omwegendereza (31:10-31).

Currently Selected:

Engero Ennyanjula: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in