Engero za Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri:
Ziyamba abantu okufuna amagezi n'okuyigirizibwanga;
Okutegeera amakulu g'ebigambo ebikusike.
Ziyigiriza amagezi ag'okukolanga eby'amagezi,
Eby'obutuukirivu, eby'amazima ne by'obwenkanya.
Ziyigiriza abatalina magezi obukabakaba,
Ziwa abavubuka okumanya n'okutegeera.