Okubala 13
13
Okubungetera kw'abaana ba Isiraeri mu ddungu emyaka ana
(13:1—19:22)
Abakessi batumibwa mu nsi y'e Kanani
1Awo Mukama n'agamba Musa nti, 2“Tuma abantu bakette ensi ya Kanani, gyempa abaana ba Isiraeri: onooggya omuntu omu, omukulembeze mu buli kika omutume.”#Ma 1:22,23 3Awo Musa n'abatuma ng'ayima mu ddungu lye Palani ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali; abasajja bonna abaali abakulembeze be bika by'abaana ba Isiraeri. 4N'amannya gaabwe ge gano: mu kika kya Lewubeeni, Semuwa mutabani wa Zakula. 5Mu kika kya Simyoni, Safati mutabani wa Koli. 6Mu kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefune. 7Mu kika kya Isakaali, Igali mutabani wa Yusufu. 8Mu kika kya Efulayimu, Koseya mutabani wa Nuuni.#Kubal 13:16, Ma 32:44 9Mu kika kya Benyamini, Paluti mutabani wa Lafu. 10Mu kika kya Zebbulooni, Gadyeri mutabani wa Sodi. 11Mu kika kya Yusufu, kye kika kya Manase, Gaadi mutabani wa Susi. 12Mu kika kya Ddaani, Ammiyeri mutabani wa Gemali. 13Mu kika kya Aseri, Sesula mutabani wa Mikaeri. 14Mu kika kya Nafutaali, Nakabi mutabani wa Vofesi. 15Mu kika kya Gaadi, Geweri mutabani wa Maki. 16Ago ge mannya g'abantu Musa be yatuma okuketta ensi. Musa n'atuuma Koseya, mutabani wa Nuuni, Yoswa.#Kuv 17:9 17Musa n'abatuma okuketta ensi ya Kanani n'abagamba nti, “Mwambukire mu kkubo lino ery'obukiikaddyo mulinnye ku nsozi, 18mulengere ensi bw'eri; n'abantu abagituulamu oba nga ba maanyi oba nga banafu, oba nga batono oba nga bangi; 19era ensi bw'eri gye batuulamu, oba nga nnungi oba nga mbi; n'ebibuga bwe biri bye batuulamu, oba nga nsiisira, oba nga bigo ebigumu; 20era ensi bw'eri, oba nga ngimu oba nga nkalu, oba nga mulimu emiti oba temuli. Mugume omwoyo, muleete ku bibala byamu.” Ebiro ebyo byali biro bya zabbibu ezisooka okwengera. 21Awo ne bambuka, ne baketta ensi okuva mu ddungu lya Zini, Lekobu, n'okutuusa w'oyingirira e Kamasi. 22Ne bambukira mubukiikaddyo obwa ddyo, ne batuuka e Kebbulooni; era abaana ba Anaki: Akimaani, Sesayi, ne Talumaayi baali babeera eyo. Kebbulooni kyali kyakamala emyaka musanvu okuzimbibwa, ne balyoka bazimba ne Zowani ekiri mu Misiri.#Yos 14:15#13:22 Anaki: Bano baali bantu bawagguufu, ba maanyi era nga batiisa nnyo. 23Abakessi ne batuuka mu kiwonvu e Esukoli, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu eky'ezabbibu, abantu babiri ne bakisitulira ku misituliro, era ne baleetayo ne ku makomamawanga ne ku ttiini. 24Ekifo ekyo ne kiyitibwa ekiwonvu Esukoli, olw'ekirimba abaana ba Isiraeri kye baatemayo. 25Awo ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi okumala ennaku ana (40). 26Ne bakomawo eri Musa ne Alooni n'eri ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ekyali mu ddungu lye Palani, e Kadesi; ne bababuulira byonna bye baalaba, ne babalaga n'ebibala by'ensi. 27Ne bababuulira nti, “Twatuuka mu nsi gye watutuma, era mazima ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bino bye bibala byayo.#Kuv 3:8, Ma 1:25 28Naye abantu abatuula mu nsi eyo ba maanyi, n'ebibuga byabwe biriko enkomera, binene nnyo: era twalabayo n'abaana ba Anaki.#Ma 1:28 29Abamaleki batuula mu nsi ey'obukkiikkaddyo, Abakiiti, Abayebusi, Abamoli, batuula ku nsozi: n'Abakanani batuula kumpi n'ennyanja, ku lubalama lwa Yoludaani.”#Kuv 17:8 30Kalebu n'asirisa abantu mu maaso ga Musa, n'agamba nti, “Twambuke mangu ago, tugirye; kubanga tuyinziza ddala okugiwangula.” 31Naye abantu abaayambukira awamu naye ne bagamba nti, “Tetuyinza kwaŋŋaanga bantu abo kubanga batusinza nnyo amaanyi.” 32Ne basaasaanya mu Baana ba Isiraeri amawulire amabi ag'obulimba agafa ku nsi gye baali bakesse, ne bagamba nti, “ Ensi gye twagenda okuketta, nsi nkalu, etebaza mmere eyinza okumala abantu abagituulamu, n'abantu bonna be twalabayo baali bawagguufu. 33Era twalabayo Abanefiri, bazzukulu ba Anaki. Tweraba nga tuli basirikitu ng'obwacaaka, era nabo bwe batyo bwe baatulaba.”#Lub 6:4
Currently Selected:
Okubala 13: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.